Mu lupapula luno, OBUWAKATIRWA,obwogerwako mu Lungereza nga verb extensions. Obuwakatrirwa, era ng'ekigambo bwe kiri, bwe butundutundu bw'ebigambo obwongerwa ku komerero y'ebikolwa okugaziya amakulu gaakyo.

Buli kawakatirwa akayungibwa ku kikolo ky’ekikolwa kalina amakulu ag’enjawulo ge kawa. Mu Luganda tulina obuwakatirwa mwenda (9) era tugenda kubwogerako wammanga kamu ku kamu.

AKAWAKATIRWA AKALAZI kyusa

Prepositional verb form

Bwe tuba tuwandiika akawakatiwa kano ku kikolwa tuyungako akatundu ku nkomerero y’ekigambo era akatundu ke tuyungako kali -era oba -ira, nga ke kakola ng’akawakatirwa akalazi.

Eby’okulabirako:

Ekikolwa Akalazi
kaaba kaabira
simba simbira
tema temeara
soma somera
saba sabira

Amakulu g'akawakatirwa akalazi kyusa

1. Amakulu agasooka kaba kalaga ekifo ekikolwa wekikolerwa

Eby’okulabirako:

  • Taata asomera Mukono.
  • Ebifaananyi abikubira mengo.
  • Mayanja atungira Kiryagonja.

2. Amakulu agookubiri gali nti kaba kalaga nti omuntu alina gw’ayamba eyandikoze ekikolwa ekyo.

Eby’okulabirako:

  • Ndeetera ebbinika eyo.
  • Nsomera ebbaluwa yange.
  • Twalira kitaawo abbaluwa

3. Amakulu agookusatu geego agalaga lwaki ekikolwa ekyo kikolebwa omuntu abeera akikola. Eby’okulabirako:

  • Mukasa alimira mpeera.
  • Kwolwo yazannyira nsimbi.
  • Taata akolera mpeera.

Amateeka agafuga ennyunga y’akawakatirwa akalazi Gali abiri: 1. Singa empeerezi y’ennyingo esooka ku kikolo eba a, i oba u, akawakatirwa akayungibwako kalina kuba -ira. 2. Singa empeerezi y’ennyingo esooksa ku kikolo eba o, e, akawakatirwa akayungibwako kalina kuba -era.

AKAWAKATIRWA AKALAZI AKADDINGA’NA kyusa

Double preposition verb form

Bwe tuba tuwandiika ekikolwa ekirimu akawakatirwa kano, ku kikolo tuyungako -erera oba –irira. Eby’okulabirako:

Ekikolwa Akalazi kadding'ana
kaaba kaabirira
tema temerera
soma somerera

Amakulu g’akawakatirwa akalazi akaddinga’na kyusa

1. Ng’erinnya ly’akawakatirwa bwe tulirabye nti lwa kuddingana era n’amakulu agasooka gali nti kaba kalaga okudding'ana ekikolwa gamba nga kaabirira, temerera n’ebirala, era nga kinokiba kitegeeza nti omuntu ekikolwa akikola buli kiseera.

2. Amakulu amalala gaba gakulaga nsonga ate nga galaga n’ekintu akola ekikolwa ekyo ky'aluubirira gamba nga; somerera, kino kiyinza okuwa amakulu gano:

  • Mukasa asomerera kugenda Bulaaya. (nsonga)
  • Mukasa asomerea ddiguli ya busawo. (ekiluubirirwa)

Amateeka agafuga empandiika y’akawakatirwa akaddingana:

  • Singa akawakatirwa akalazi akaddingana kaba -ira, olwo akawakatirwa akalazi akaddingana kaba –irira.
  • Singa akawakatirwa akalazi kaba –era akawakatirwa akalazi akaddingana kaba –erera.

AKAWAKATIRWA KANAALUZAALA kyusa

Causative verb form

Buli lwe tuwandiika ekikolwa ekirimu akawakatirwa ka kanaaluzaala, ku kikolo tuyungako enyingo zino; -za, -sa, -isa, -esa ne –ya.

Eby’okulabirako:

Ekikolwa kanaaluzaala
kaaba kaabisa/kaabya
samba sambisa/sambya
soma somesa/somya

Amakulu ga kanaaluzaala kyusa

Kanaaluzaala bw'ekozesebwa mu kikolwa esobola okuwa amakulu ga mirundi esatu’, okugeza: Amakulu agasooka gayinza okulaga omuntu aleetera ekikolwa ekyo okukolebwa era y’ensonga lwaki tukayita kanaaluzaala. Eby’okulabirako

  • Londesa / lonza abaana ebisaaniko.
  • Sombesa/ sombya abaana emiti egyo.
  • Lundisa / lunza abaana ente ezo.

ii) Amakulu agookubiri gaba galaga ekintu ekikozesebwa mu kukola ekikolwa ekiba kikolebwa.

Eby’okulabirako

  • Ayigirizisa bifaanayi.
  • Tutemesa mbazzi.
  • Alimisa nkumbi.
  • Alumya mannyo.

iii) Kaba kalaga ensonga lwaki ekikolwa kikolebwa, okugea:

  • Kiki ekikuyimbisa ennyimba ezo?
  • Ekikulimisa mu lutobazi kiki?

Amateeka agafuga empandiika y’akawakatirwa kano. 1. Ekikolwa bwe kiba nga kisembyayo ennyingo –ra oba –ja ne –ga, ennyingo ezo tuyinza okuziggyawo ne tuteekawo ennyingo-za eraga akawakatirwa kanaaluzaala. Eby’okulabirako: -ra, -ja, -ga =(za)

Ekikolwa Kanaaluzaala Laga Laza Londa Lonza Twala Twaza Bajja Bazze Beera Beeza

2. Ate ennyingo esembayo bw'eba –ka oba –ta olwo ennyingo eyo tugiggyawo ne tuteekawo sa. Eby’okulabirako -ka, -ta =(sa)

Ekikolwa Kanaaluzaala Kanaaluzaala
teeka teesa teekesa
Example Example Example
biika biisa biikisa
kwata kwasa kwatisa

AKAWAKATIRWA AKASOBOKA kyusa

Capable verb form

Akawakatirwa kano tukawandiika nga tulaga nti ekikolwa kisoboka okukolebwa oyo aba ayagala okukikola. Bwe tuba tuwandiika akawakatirwa kano ku nkomerero y’ekigambo tuteekayo ennyingo zino; -ika, -eka, -ezeka oba –izika.

Eby’okulabirako Ekikolwa Akawakatirwa akasoboka Kola Koleka Sala Salika Kuma Kumika Beera Beereka Toola Tooleka Wola Woleka Soma Someka

Eby’okulabirako mu mboozi

  • Ogw’obusawo mulimu gukoleka
  • Ku kibuga tekubeereka
  • Si wawanvu era wabuukika
  • Ebigambo by’awandiise bisomeka.

Weetegereze: ate singa tuba tukozesa akawakatirwa akasoboka ak’ennyingo –izika ne –ezeka ku kikolo ky’ekikolwa tukayungako bwe tuti: Ekikolwa Akasoboka (-izika ne –ezeka) Wonya Wonyezeka Nyumya Nyumizika Noonya Noonyezeka

Eby’okulabirako:

  • Obulwadde bw’ensimbu buwonyezeka.
  • Emboozi z’okusoma zinyumizika.

Amateeka agafuga enkozesa y’akawakatirwa akasoboka. Bwe tuba tuyunga akawakatirwa akasoboka ku kikolwa ennukuta esemba ku kikolo tusooka kugiggyawo ne tulyoka tuyungako akawakatirwa. Eby’okulabirako: Som(a) = eka – someka

Amateeka g'akawakatirwa akasoboka kyusa

  • Ennyingo esooka ku kikolo ky'ekikolwa bw'eba a, u oba i ku kikolwa tuyungako akawakatirwa –ika.
  • Ennyingo esooka ku kikolo ky'kikolwa bw'eba o oba a ku kikolwa tuyungako akawakatirwa –eka.

AKAWAKATIRWA KYESIRIKIDDE kyusa

Passive verb forms

Bulijjo bwe tuba twagala okuwandiika sentensi naye nga essira tuliteeka ku kikolwa, sentensi eyo, tugiteeka mu kyesirikidde passive form. Wabula ekitundu ekikyuka kiba kikolwa. Ekikolwa tukiteeka mu kyesirikidde nga tuggyawo ennukuta eya “a” esemba ku kikolwa olwo ne tuyungako ennyingo zino; -ibwa, -ebwa, -ibbwa, -iddwa, -wa, -ebbwa.

Eby’okulabirako: Ekikolwa Kyesirikidde Sala Salibwa/salwa Lima Limibwa/ limwa Soma Somebwa/ somwa Loopa Loopebwa/loopwa Samba Simbibwa /simbwa Siba Sibibwa/sibwa

Eby’okulabirako

  • Omupiira guzannyibwa
  • Bino bikolebwa ani?
  • Sukaali asimbibwa lwakasota.
  • Ebitabo byasomebwa bulungi.

Amateeka agafuga empandiika ya kyesirikidde kyusa

Bulijjo ennyingo esemba ku kikolwa bw'eba n’empeerezi a, i oba u tuyungako akawakatirwa –ibwa, wabula ebiseera ebisinga ebigambo ebirina ensirifu ebbiri naye nga birina empeerezi emu “nnannyingo emu” bitera kuyungibwako kawakatirwa “-ibwa”. Eby’okulabirako Ekikolwa Kyesirikidde Bba bbibwa Ggya Ggyibwa Tta Ttibwa

Naye ate Nnannyingo emu bw'eba n’ensirifu emu ebiseera ebisinga eba n’akawakatirwa “-ebwa” Okugeza; Wa----weebwa Ta-----teebwa Sa-----seebwa

Weetegereze:

Singa kyesirikidde eba ewandiikibwa mu kiseera ekyayise naye nga tekiussa ssaawa abiri mu nnya (24) emabega ekikolwa ekiba kiwandiikibwa tukiyungako –eddwa, -bbwa oba –ebbwa.

Eby’okulabirako:

Ekikolwa Kyesirikidde Kola Koleddwa/kolebwa Simba Simbiddwa/simbibwa Teeka Teekeddwa/teekebwa Manya Manyiddwa/manyibwa Saba Sabiddwa/sabibwa

Ekibuuzo: Wandiika sentensi ttaano nga zirimu Nnakamwantette ozizze mu kyesirikidde. Nnakamwantette Kyesirikidde Abaana basoma bitabo Bisomebwa Omusajja atemye omuti gutemeddwa Musoke alonze ensimbi zirondeddwa Basiimuula nnyumba esiimuulibwa Asamba mupiira gusambibwa

AKAWAKATIRWA AKAJJULUZI / AKADDANNYUMA kyusa

Reversive verb form

Akawakatirwa akajjuluzi kakozesebwa nga kalaga ekikolwa ekikoleddwa kyetaaga okujjulula kidde nga bwekibadde nga tekinnakolebwa.

Ekikolwa ekirimu akawakatirwa akajjuluzi ku nkomerero yaakyo kayungibwako ennyingo –ulula, -ula, oba –ukuka, era bwe tuba tuyunga ku kikolwa akamu ku buwakatirwa obwo ennukuta “a” esemba ku kikolwa eggyibwawo olwo ne tulyoka tuyungako akawakatirwa.

Eby’okulabirako: Ekikolwa Akawawakatirwa akajjuluzi Samba Simbula/simbulula Timba Timbula/timbulula Ggala Ggula Wandiika wanduukulula Vvuunika Vvuunula

Eby’okulabirako

  • Musisi baamuwanduukulula mu kitabo ky’ekika ky’emmamba.
  • Nakato simbula emmotoka eyo.

Weetegereze

Waliwo ebigambo aboogezi n’abawandiisi bye bakozesa mu bukyamu nga bataddeko akawakatirwa akajjuluzi nga bitegeeza ekintu kirala nnyo gamba nga: Ddaabiriza ddaabulula Tamiira tamiirukuka Nyaga nyagulula

Ebigambo ebyo bisaana okwegendereza.

Wabula waliwo ebikolwa ebirala ebikyuka nga twetaaga kifuulannenge waabyo “opposite” olwo nno ne bikola akawakatirwa akajjuluzi. Eby’okulabirako Siba sumulula Tugga taggulula Saaniika jjula

AKAWAKATIRWA AKADDIŊŊANA kyusa

Repeative verb form

Ng’erinnya bwe lyogera, akawakatirwa kano kalaga okudding’ana kw’ekikolwa. Mu mboozi ekikolwa kye nnyini kye tuddamu okuwandiika. Eby’okulabirako: Ekikolwa Akawakatirwa akadding’ana Tema tematema Soma Somasoma Kuba Kubakuba Vuma vumavuma Siba Sibasiba

Ebyokulabirako mu mboozi

  • Mwana wattu tematema emiti egyo.
  • Si kirungi kugenda ng’ovumavuma buli muntu.
  • Ebintu bisibesibe mu bwangu tuve wano.

Amakulu g’akawakatirwa kano ng’oggyeeko ag’okudding’ana ekikolwa gali nti, omuntuakola ekikolwa ekyo amala geekolers era tekinyirira bulungi.

AKAWAKATIRWA AKAKOLAGANYI kyusa

Reciprocal verb form

Akawakatirwa kano kawandiikibwa okulaga nti waliwo liiso ku liiso wakati w’abantu babiri oba abasukka ababiri nga buli omu akola munne ekintu kye kimu. Buli lwe tuba tuwandiika ekikolwa ekirimu okukolagana ku kikolwa tuyungako akawakatirwa -ŋŋana oba –gana ku nkomerero yaakyo.

Eby’okulabirako Ekikolwa Akawakatirwa akaddiŋŋana Tta ttiŋŋana Bba bbiŋŋana Tya tyaŋŋana Dda ddiŋŋana

Weetegereze Ebikolwa byonna ebirina ennyingo emu “monosyllable” tubiyungako akawakatirwa –gana. Okugeza; Ekikolwa Akawakatirwa akakolaganyi Kyawa kyawagana Siba Sibagana Tema Temagana Kuba Kubagana

Wabula ebikolwa ebirina ennyingo esukka mu emu naye nga bisembyayo ennyingo “ga” ebyo byo tubiyungako akawakatirwa -ŋŋana.

Eby’okulabirako Laga lagaŋŋana Loga logaŋŋana

AKAWAKATIRWA AKEEKOLAKO kyusa

Reflective verb form Akawakatirwa kano kakyuka ku bulala kubanga ko kayungibwa mu kikolw amunda ate era kalagibwa na nnukuta mpeerezi “ee”. Buli lwe kawaniikibwa kaba kalaga nti ekikolwa omuntub akikola akyekolako ye kennyini.

Wabula nolumu akawakatirwa kano mu mpandiika kayinza obutalaga nnukuta ezo zombie empeerezi bnaye era munda mu njatula zibaamunaye olw’amateeka agafuga empandiika y’Oluganda entongole ennukuta emu evaawo.

Bino wammanga bye bimu ku bigambo ebirimu akawakatirwa akeekolako:

  • Yeeraga
  • Nneeraba
  • Beesiima
  • Keesoma

Wabula ebigambo ebirala bisobola okubaamu akawakatirwa kano “akeekolako” naye nga empeerezi ebbiri tezikozeseddwa ne tukozesa empeerezi emu nga bino;

  • Mwesoma
  • Lwekuba
  • Mweyimba

References kyusa

  1. Ashton, Ethel O. (1954) Luganda grammar.London, New York, Longmans, Green.
  2. Kyagaba, Dan. (2003). Grammar w'Oluganda omusengejje.
  3. Walusimbi, Livingstone. Oluganda lwa Yunivaasite. Makerere University.