Obuzimbe bwa atomu (the atomic structure)
Template:Charles Muwanga Obuzimbe bwa Atomu/ Obuzimba bw'obuziba
(the atomic structure)
Atomu ekolebwa bu obutoffaali obusirikitu busatu : Obusannyalazo oba obusannyalaza,obukontanyo era obuyitibwa kikontana oba konta ne nampawengwa oba nampa. Atomu bbiri oba okusingawo zekwasawaza mu kiyitibwa ekikyusabuziba(ekikolwa ekikyusa obuziba bw'ekintu) ne zikola molekyu.
Molekyu (molecule) n’olwekyo ekolebwa wtomu (atoms) bbiri oba okusingawo. Molekyu bwe butoffaali obuddirira atomu mu butini, obukola buli kiramu n’ekitali kiramu. Ky’olina okumanya kwe kuba nti molekyu ekolebwa butoffaali obusingayo obutini obuyitibwa obuziba oba atomu.
Molekyu nnyinji ddala. Mu butuufu mu mubiri gwo gwokka mulimu molekyu nnyinji okusinga emmunyeenye (enjuba) zonna z’oyinza okulengera mu bwengula.
Buli molekyu erina ekikula eky’enjawulo ekigizobozesa okukwatagana ne molekyu endala okusobozesa ebiramu okweyisa nga ebiramu, ka tugambe nga bitambula, bisegeera (sense perception) zabyo, bizaala , n’okukola ebintu byonna ebisobozesa ebiramu okubaawo.
Atomu ezifaanagana bwe zekwasawaza mu kikyusabuziba zikola ekiyitibwa endagakintu ey'enkyusabuziba =emeera eraga ekintu okukyawula ku bintu ebirala (Element) .Endagakintu (element) ky’ekintu ekizimbiddwa mu kika kya atomu kimu kyokka. Eky’okulabilako, endagakintu eyitibwa ayidilogyeni (hydrogen) ekolebwa mu atomu ezirimu konta emu n’akasannyalazo kamu .
Mu endagakintu ey'enkyusabuziba endala mulimu ebika eby’enjawulo, omuli: okisigyeni, sirikoni, aluminiyaamu, ayoni, maginiziyaamu, kalusiyaamu, potasiyaamu, ne sodiyaamu kyokka zonna wamu zisukka mu kikumi.
Konta ze zifuula endagakintu ey'enkyusabuziba ki ky'eri so si busannyalazo. Eky’okulabilako, buli atomu ya kaboni ebaamu konta mukaaga (6) , kyokka ziyinza okuba n'obusannyalazom bwa njawulo.Singa okozesa enzimbulukusa (Microscope) n’olaba atomu eziri mu kika ekimu ekya ayidilogyeni , wandirabye nti atomu ezisinga tezirina nampa , ezimu zirina nampa emu, n’entonotono nampa bbiri. Ebiti bya ayidilogyeni bino eby’enjawulo biyitibwa “vampa” (isotopes).
Vampa zonna ez'endagakintu ez'enkyusabuziba emu zirina namba ya konta y'emu (same atomic number) kyokka zisobola okuba n’omuwendo gwa nampa ogw’enjawulo. Bw’okyusa omuwendo gwa konta eziri mu atomu emu ,oba okyusizza ekika kya endagakintu ey'enkyusabuziba eno . Ate bw’okyusa omuwendo gwa nampa atomu gw’erina okola vampa ey'endagakintu eyo.
Mu essomabuziba (chemistry) , waliwo enjawulo wakati w; ekintabuli n’ekipooli .Ekitambuli (mixture) kye ekintu ekiva mu kutabula ebintu eby’enjawulo bibiri oba okusingawo awatali nkwaso ya nkyusabuziba(chemical bonding). Ekintabuli ebiseera ebisinga kisobola okwawulwamu buli kintu ekiba kikozesebbwa mu kutabula ne kijjibwamu nga bwe kyabadde . Ekyokulabilako ekintabuli ky’amazzi n’omunnyo.
Mu essomabuziba(Chemistry), ekipooli(compound) ky’ekyo ky’ofuna nga atomu ez'endagakintu ez’enjawulo zekwasaganyizza okuyita mu kikyusabuziba.Wano wabeerawo enkwaaso ya kemiko(chemical bonding).
Buli kipooli molekyu naye si buli molekyu nti kipooli . N’amazzi nago molekyu kubanga gakolebwa okuva mu watomu ezikwatanganyiziddwa n’enkwanso za nkyusabuziba. Ate era amazzi kipooli kubanga atomu ezikola amazzi zonna si zeezimu , ezimu atomu za okisigeni ate endala za ayidilogyeni.
Okisigyeni mu nampewo molekyu kubanga ava mu atomu bbiri eza okisigyeni. Okisigyeni mu nampewo si kipooli kubanga akolebwa okuva mu atomu eza erementi y’emu, erement ya okisigyeni. Eno eyitibwa "molekyu ya atomubbiri" (diatomic molecule) kubanga molekyu eno eva mu atomu bbiri ezekika ekimu.