Okucaafuwaza Amazzi
Okucaafuwaza Amazzi
kyusaAmazzi geetaagisa mu bulamu. Tekyetaagisa kukkaatiriza mugaso gwa nsonga eno. Wabula okucaafuwaza amazzi kye kimu ku bizibu eby’entiisa eby’obwebungulule bwaffe ensangi zino.[1]
Okucaafuwaza amazzi kyeki?
kyusaOkucaafuwaza amazzi kubaawo ng’ebintu eby’obutwa bigenze mu nsibuko z’amazzi ez’enjawulo. Okugeza, mu nnyanja , mu migga , mu gayanja n’ebifo ebirala. Ebintu ebyo bwe bigenda mu mazzi ago, bimulungukiramu era ne bibeera mu go oba ne biteeka ku ntobo yaago. Kino kireetera omutindo gw’amazzi ago okubeera nga gusse nnyo era amazzi ago gaba tegakyali malungi n’akamu. Amazzi ago bwe gacaafuwala, tekiba kizibu ky’ebyo ebibeeera mu mazzi byokka wabula, obucaafu obwo butambula ne bubuna wonna mu bifo ebivaamu amazzi ge tukozesa. Amazzi ago gye gakkira nga gatuuse ne mu maka gaffe era nga ge gamu kwaago ge tukozesa ewaka. Oluusi twesanga nga ge tunywa.
Ensibuko n’ebiva mu kucaafuwaza amazzi
kyusaOkucaafuwaza amazzi kusobola okuggyawo mu ngeri ez’enjawulo. Emu ku ngeri esingira ddala y’ey’obucaafu obuva mu kibuga ne kasasiro/ebisaaniiko ebiva mu makolero. Engeri endala ezireetera amazzi okucaafuwala z’engeri ze tutasobola kulaba butereevu: kwe kugamba, obucaafu obuyingira mu mazzi nga buva mu ttaka oba mikutu gy’amazzi g’omu ttaka ne mu bbanga nga buyita mu nkuba. Ettaka n’amazzi g’omu ttaka mubaamu ebisigalira by’ebirime by’abantu wamu n’ebicaafu ebiva mu makolero ebitakwatiddwa bulungi.
- ↑ "Water pollution". WWF). Retrieved 12 November 2016.