Okuggya[[1]] buba buvune ku lususu oba ekitundu ky'omubiri ekirala, ekireetebwa ebintu ng'okuggya omuliro, okukubibwa amasannyalaze, ebidagala ebya kkemiko (chemicals) n'ebirala ebiyinza okwokya omubiri.

Tetanus

Okuggya kuno kuleetebwa ebintu eby'enkula yonna okwo nga kwe kuli n'omuliro gwennyini, naye nga mu bakyala kusinga kwesigamizibwa ku muliro gwe bafumbisa. Ebirala ebiyinza okuleetawo okuggya kuliko ettamiiro, okukommonta (okunywa) ebintu nga ssigala, oba abantu okusalawo bo bennyini ne beeyokya mu ngeri ey'okwesaanyaawo.

Engeri z'okuggya omuliro

kyusa

Okuggya okw'ekika ekisooka, kusinga kukoma ku lususu, nga bimyufu era nga bisinga kuwonera mu nnaku nga ssatu. Okuggya okw'omulundi ogwokubiri, byo biba byeyongeddeko munda mu lususu era olususu lusituka ne luzimba ebimmonde ebirimu amazzi (blisters) era biba n'obulumi bungiko. Okuwona kw'ebiwundu bino kwanditwala wiiki nga munaana(8), era ng'oluvannyuma lw'okuwona watera okusigalawo enovu ekiwundu ky'omuiro we kibadde.

Okuggya okw'olundi ogwokusatu, kwekwo okw'obutaffaali bw'olususu lwonna awo mu kifo awaba wayidde, ebintu ng'ennyingo ne biggya n'oluusi n'okutuuka ku ggumba ekiwundu ekyo kitera kuba kimyufu nnyo oba nga kiddugavu.

Okujjanjaba omuliro

kyusa

Obujjanjabi bw'ebiwundu bino businziira ku bunene bw'ekiwundu, anti obuwundu bw'omuliro obutonotono butera kwetaagisa ddagala lya bulijjo erikikkakkanya obulumi. Naye byo ebinene ennyo biba bisaana obujjajabi obw'enjawulo obutera okutwala ekiseera ekiwanvuko, okusinziira ku ktundu ky'omubiri ekiba kiyidde.

Ebiwundu biri eby'omulundi ogwokubiri biba byetaagisa okunaaza ng'okozesa ssabbuuni n'amazzi era n'okubisiba ppulasita. Engeri y'okujjanjabamu ebimmonde ebiba bizimbye ku lususu olw'okuggya si nnambulukufu bulungi, naye oweebwa amagezi bwe kaba katono, kaleke, ate bwe kiba kinene kitulise n'amazzi ogakenenulemu mpolampola. Naye byo ebiwundu ebinene ennyo(eby'omulundi ogwokusatu) bitera kwetaagisa okubijjanjaba nga bakozesa enkola z'ebyokulongoosa, gamba nga enkola eyookusala akafi k'ennyama ku mubiri ewalala ne baziba ewali ekiwundu kyomuliro ekyo, ekiyitibwa 'skin grafting'. Ate era ebiwundu bino ebinene bitera okuviiramu okukwatibwa kw'endwadde nga 'Tetanus', ery'omulwadde yandibadde agemesebwa mangu ddala nga yaakaggya.

Newankubadde omuntu bw'aggya ennyo kiyinza okumuviiramu okufa, naye eddagala erizze livumbulwa okuva eyo mu myaka egy'enkaaga lyongedde okuwonya abantu naddala abaana abato n'abavubuka. Era ebivaamu eri omuntu ayidde byesigamizibwa nnyo ku bunene bw'ebbwa era n'emyaka gy'omulwadde.