Okugunja ebigambo(Conceptualisation)

Okusinziira ku Muwanga mu kitabo kye "Essomannimi", okugunja ebigambo(conceptualisation), kye kintu omuzadde ky'akola nga yakazaala omwana omuwere n'amutuuma erinnya. Mu butonde bwe , omuzadde bw'aba awa omwana erinnya asooka kumutuuma eryo eriri mu njogera ey'obuwangwa bwe , so si kusookera kw'eryo nga Yowaana oba kamaadi amewole okuva ku buwangwa obugwira.Bw'amala okumutuuma erinnya ery'obuwangwa olwo aba waddembe okumwongerezaako erinnya eryewole okuva mu buwangwa obugwira.

A representation of the concept of a tree. The four upper images of trees can be roughly quantified into an overall generalization of the idea of a tree, pictured in the lower image.

Erinnya eryo eriva mu buwangwa bw'omuzadde lye lisinga okukola amakulu eri omwana oyo n'abantu ab'obuwangwa bwe era lye lisinga okwawula omwana oyo ku bantu abalala bonna,abalina endabika n'enneeyisa ez'enjawulo. Kati nno bwe kiba nti bajjajjaffe babadde bazimba emiramwa nga bawa abato amannya agabaawula ku bantu abalala enkuyanja, lwaki abantu baffe ab'omulembe guno nga n'abamu bayizi balowooza nti okugandawaza 'ekibalangulo"(mathematics) n'ekimanyo(sayansi) tulina kwewola bwewozi bigambo okuva mu nnimi ez'ebunaayira.

genda mu Uganda Book Shop, Mukono Bookshop, ne Buganda Tourism Center ogule ebitabo ebifudde oluganda olulimi olwa sayansi ate nga ebigambo by'okubala(ekibalangulo) ne sayansi ebisinga Muwanga abigunjizzaawo nga yeyambisa ensibuko, ntegeeza ebigambo ebiriwo mu Luganda, n'akugambo nto "okwebiriga" oba "okubiriga" embaziso kivvuunula eky'olungereza "to square a number" , okuva mu mbaziso bbiri(2) ate n'akugamba nti "okwesatuza" oba "okusatuza" embaziso kivvuunulwa "cubing a number)okuva mu mbaziso satu(3).

Ate laba muwanga bwajja n'akugamba nti "embaziso" , namba ezibala" kye kivvuunula eky'olungereza "number" ate bw'amala n'akugamba nti "zero" mu luganda y'enkuumakifo(placeholder) ate bw'amala n'akugamba nti kyokka embaziso era oyinza okugiyita "namba" mu Luganda era "enkuumakifo(zero) era oyinza okujiyita "zziro" oba "zzeero" mu Luganda.

laba Muwanga bw'akugamba nti "angle" mu luganda liba "eppeto" mu bunji "amaweto" oba "empeto" ekiyinza okutegeeza "ensonda oba ekkoona. Laba bw'ajja n'akugamba nti "line" eky'olungereza era oyinza okukiyita "layini" ekyewole mu Luganda oba "olukoloboze" oba "omusittale". Olulimi lugaggawala bigambo ebirina amakulu ge gamu oba agaliraaniganye .

Abaganda mulekere awo okwewugguusa nga mugamba nti emiramwa gy'okubala ne sayansi tugyewole bwewozi okuva mu nnimi engwira. Wegatte ku Muwanga tugaggawaze olulimi lw'obujajja !!Alaze nti ebigambo bye tuyinza okweyambisa okugunjawo emiramwa egya sayansi n'ekibalangulo(Okubala) egisinga obunji tubirina mu Luganda !Ssabasajja kabaka awangaale ne Nabagereka agarekere Obuganda.