Faith Alupo (9 Ogwekkumi 1983 – 15 Ogwomwenda 2020) yali Munnabyabufuzi wa Uganda[1] eyaweereza ng'omubaka wa Paalamenti, akiikirira Disitulikiti y'e Pallisa. Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gwomukaaga 2018.[2]

Alupo yalangirirwa era n'akakasibwa ku bw'omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti y'e Pallisa wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement oluvannyuma lwa Achola Catherine Osupelem, owa Forum for Democratic Change (FDC) omubaka omukyala eyali y'esimbyewo naye akakiiko k'ebyokulonda n'ekamugya mu lw'okaano olw'okukozesa amannya agatakwatagana n'ago agali ku biwandiiko bye eby'obuyigirize. Kino ky'alangirirwa mu bbaluwa nga 14 Ogwomusanvu era nga kyasibwako omukono Omulamuzi Simon Byamukama.[3]

Obuto bwe n'misomo gye

kyusa

Alupo yali mufumbo era yalina obumanyirivu mu kukwasaganya abantu abayita mu mbeera ey'okusoomozebwa. Mu 1997, Ebigezo bye eby'akamalirizo ebya Primary Leaving Examinations y'abimaliririza ku Pallisa Girls Primary School. Mu 2001, Alupo yakola ebigezo bye ebya Uganda Certificate of Education ku Pal and Lisa College. Mu 2003, yafuna Satifiketi eya Uganda Advanced Certificate ku MM College Wairaka. Yamaliriza Diguli y'essooka eya bachelor's degree in social work and social administration ku Uganda Christian University, Mukono mu 2007. Oluvannyuma lw'emyaka ena (mu 2011), Faith yegatta ku Ttendekero ly'abannamateeka erya Law Development Centre, Kampala n'afuna Satifikeeti mu mateeka.[1]

Ebyafaayo ku mirimu gye

kyusa

Wakati wa 2007 ne 2008, yatandiika omulimu gwe ogw'asooka ng'omukozi alondola abalwadde abaweebwa obujjanjabi mu Divizoni y'e Makindye. Okuva mu 2008 okutuuka 2009, yakola ng'omusoyisoyi w'kitongole kya Uganda Bureau of Statistics. Okuva mu 2010 okutuuka 2011, yatandiika okukola ku Ggombolola ng'akwasaganya eby'okulonda mu kakiiko k'ebyokulonda, Pallisa.

Mmemba wa Paalamenti

kyusa

Mu 2018, Gavumenti ya Uganda y'akutulamu Disitulikiti y'e Pallisa, n'ekola Disitulikiti y'e Butebo okuva ku matwale gaayo. Eyali Omubaka omukazi muPaalamenti ya Uganda owa Disitulikiti, Agnes Ameede, yasalawo okukiikirirz Butebo, n'aleka ekifo ky'omubaka omukazi mu Paalamenti ng''a kyelere.[4] Alupo yawangula okulondebwa kwa National Resistance Movement (NRM) mu kifo ekyo nga 28 Ogwokutaano 2018, nga yakuŋŋaanya obululu 34,580 mu kalulu k'ekibiina okugerageranya ku 26,995 ne 11,058 abaali b'amuvuganya Kevin Kaala Ojinga ne Josephine Ibaseret.[5] okulonda kw'okujjuza ekifo kwategekebwa nga 28 Ogwomukaaga. Abeesimbawo ku kifo ekyo baali bataano naye abasatu b'awandukamu ne baleka Alupo n'owa Forum for Democratic Change (FDC) Catherine Achola mu lw'okaano. Ababiri bano abaali besimbyewo, basunsulwa Akakiiko k'ebyokulonda mu Uganda nga 5 Ogwomukaaga, wabula nga 19 Ogwomukaaga akakiiko kalangirira nti Achola yali agiddwa mu lw'okaano olw'obutakwatagana mu mpapula ze ez'obuyigirize ne zeyawaayo mu kusunsulwa.[4]

Okuva mu 2018 - 2020, yaweereza nga Mmemba wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda.

Okufa kwe

kyusa

Yafa nga 15 Gwomwenda 2020 ku Ddwaliro lye Mulago, gyeyali afunira obujjanjabi ku bulwadde bw'entunnunsi ne sukaali.[6] Lumiima mawuggwe, mu kaseera ekirwadde kya COVID-19 pandemic mu Uganda, nabwo bw'ali busuubirizibwa kubanga yali akalubirizibwa mu kussa.[7] Nga 18 Ogwomwenda, New Vision yawandiika nti Alupo yali afudde " mu kaseera weyali afunira obujjanjabi mu Ddwaliro eddene ery'eMulago ng'abagamba nti kyali kivudde ku bulwadde bwa Lumiima mawuggwe",[8] ng'ebula ennaku abiri mu nnya okutuuka ku mazaalibwa ge aga 37.

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. 1.0 1.1 https://web.archive.org/web/20200920013825/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=518
  2. cwelikhe (22 November 2018).
  3. https://www.ntv.co.ug/news/national/NRM-s-Alupo-declared-Paliisa-Woman-MP-after-FDC-s-Achola/4522324-4623114-q274vw/index.html
  4. 4.0 4.1 https://www.independent.co.ug/the-pallisa-woman-mp-candidate-case/
  5. Okwakol, Lawrence (28 May 2018).
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/pallisa-woman-mp-faith-alupo-dies-2017918
  7. Etukuri, Charles (15 September 2020).
  8. https://www.newvision.co.ug/news/1527348/life-fallen-mp-faith-alupo

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa