Okukola ebintu ebipya okuva mu birala

Okukola ebintu ebipya okuva mu birala[[1]] y’engeri y’okufuula kasasiro ekintu eky’omugaso. Kino kituyamba okwewala okwonoona ebintu ebyandibadde eby’omugaso. Kasasiro bw’akolebwamu ebintu ebirala kiyamba n’obutayonoona bwebungulule bwaffe ng’amazzi, empewo, n’ettaka.

Paper recycling

Ebintu ebikolebwamu ebipya bizingiramu ebintu eby’enjawulo nga giraasi, empapula, kaadiboodi, ebyuma, pulasitiika, ebipiira, engoye n’ebyamasannyalaze. Mu ngeri y’emu n’okukola nakavundira mu bintu ebivunda nga emmere n’omuddo nakyo kitwalibwa ng’okukola ekintu ekipya okuva mu birala.

Ebintu ebigenda okufuulibwamu oba okulebwamu ebirala bisobola okutwalibwa we bikuŋŋaanyirizibwa oba mu kifo emmotoka w’ebiggya ne bisosolwa, ne biyonjebwa ate olwo ne bikolebwamu ebintu ebipya mu makolero.

Ekitera okubaawo kye kino nti ekintu ekikolebwamu ekirala, ekyo ekirala ekikoleddwa kiba kya ngeri eyo yennyini. Okugeza, empapula zikolebwamu empapula endala, oba akaveera akasuuliddwa ne kakolebwamu akaveera akalala. Wabula, kigambibwa nti enkola eno eyinza okubeera ey’ebbeeyi okusinga okukola ekintu ekipya kyennyini.

Entandikwa y'omulimu guno

kyusa

Okukola ebintu ebipya okuva mu birala kibaddenga kikolebwa okuva emabega yonna. Kigambibwa nti enkola eno yandiba nga yatandikira ku mulembe gwa Plato mu myaka gya 400 BC (Kristo nga tannajja). Mu kiseera ebikozesebwa we byabeerera eby’ebbula, okunoonyereza kw’ebyafaayo ebyekaliriza ebisigalira by’ebyo ebyakozesebwanga kulaga nti ebintu bitono nnyo eby’ebintu ebyakozesebwanga awaka ebyazuulibwanga (gamba nga evvu, ebipapajjo by’ensuwa n’ebirala). Kino kitegeeza nti kasasiro mungi yaddangamu okukozesebwa mu kiseera ky’ebbula.

Mu biseera ng’omulembe gw’amakolero tegunnaba waliwo ebiraga nti kasasiro eyavanga ku byuma mu bitundu by’e Bulaaya yasaanuusibwanga n’addamu okukozesebwa. Gwo omulimu gw’okuddamu okukola ebirala okuva mu mpapula gwasooka kukolebwa mu mwaka gwa 1031 mu Japaani. Ate mu Bungereza, kasasiro ava mu mbaawo yakolebwangamu amataffaali.

Ebiseera bwe byagenda biyitawo, amakolero gaatandika okwetaaga kasasiro gwe gasobola okukolamu ebintu ebipya. Go amacupa aganywerwamu soda n’omwenge abantu baagazzangayo ne babawa ssente. Kino kyatandikira Bungereza ne Ireland eyo mu myaka gya 1800 naddala ku macupa aga Schweppes.

Okukuŋŋaanya

kyusa

Engeri nnyingi eziteereddwawo okukuŋŋaanyizaamu kasasiro. Engeri zino ezimu zitandikibwako abaagala okukolamu ensimbi ate endala zitandikibwawo gavumenti. Okukuŋŋaanya kasasiro kulimu engeri ssattu okuli ebifo ewasuulibwa kasasiro, awatundirwa kasasiro n’ewateekebwa kasasiro ku makubo okuggyibwawo emmotoka.

Okusosola

kyusa

Kasasiiro bw’akukuŋŋaayizibwa awantu, oluusi abeera tasosoddwa nga bw’aba alina okubeera. Bwe kityo, aba alina okusosolwa okusinziira ku bika ebimulimu. Okugeza, obuveera, emisumaali, n’ebirala ne bitegekebwa byokka na byokka. Kino kikolebwa bwe kityo kubanga kasasiro oyo bw’aba ng’agenda kuddamu okukolebwamu ebintu ebirala alina okusosolwa obulungi olwo ebintu ebyo bisobole okukosebwa. Kino kitegeeza nti tulina okuyiga n’okwemanyiiza okusosola kasasiro mu ngeri ennungi.