A man digging

Okulima kye ki?

kyusa

Okulima kye kikolwa eky’okweyambisa emikono, enkumbi oba ekintu kyonna ekirala okuggya omuddo awantu n’okukyusakyusa ettaka mu ngeri ez’enjawulo olw’okuteekateeka ettaka eryo okusimbibwako ekirime.

Okulima mulimu mukulu wano mu Buganda. Kumpi emmere yonna gye tulya eva mu kulima.

Omuntu alima ngeri ez’enjawulo

kyusa

Okusambula: kuno kwe kulima awantu awali akasikosiko oba awali omuddo oguduumuuse. Awantu awo awaba wazise bwe watyo wayitibwa kisambu. Awo awasambulwa waba waalimwako dda, naye nga wayiseewo sizoni nga emu emabega nga tewalimwa. Okusambula kukolebwa okutegeka ekifo ekyo kitegekebwe okusigibwamu.

Okukabala: kuno kwe kulima ng’oli atema engeri y’amavuunike kyokka ng’amavuunike ago agakuba naye nga tayanjala. Kino kikolebwa awantu awategekebwa okusigibwa nga oli agenderera okugonza ettaka. Oluvannyuma lw’okukabala, omuntu asobola okwanjala n’alyoka asiga.

Okutema amavuunike: okutema amavuunike kwe kutema ennyo mu ttaka ng’ettaka ligenda likolwa ebitole ebitagenda kukubirwawo. Ebitole ebyo biyitibwa amavuunike. Amavuunike gatera kutemwa awantu awali omuddo nga olusenke, olumbugu, ebisagazi, oba ettale. Awatemwa amavuunike watera kuba nga tewalimwangako oba nga walwiridde ddala ebbanga nga tewalimwa, amavuunike ne gatemwawo amazzi gasobole okusensera mu ttaka eryo. Emirundi mingi amavuunike gatemwa mu kiseera kya musana era gatera okumala emyezi nga ebiri n’okusingawo nga tegannakubwa.

Ekifo ekitemeddwamu amavuunike bwe kirongoosebwa ne kisigibwamu emmere, kitera okubaza ekirime ekyo ekisimbiddwamu.

Okukuukula: okukuuukula kukolebwa awantu awaba waggyiddwa ekirime nga ebijanjaalo, muwogo, kasooli oba ebinyeebwa. Kuno kuba kuggya muddo ogwo oguba awantu awo awaggyiddwa ebirime, olwo walyoke wategekebwe okuzzibwamu ekirimu ekirala mu lusimba oluddako.

Okwanjala: okwanjala kwe kulima nga bw’okuba ettaka ly’otema nga bw’olonda n’omuddo gwonna oguba awo w’olima. Okwanjala kutera kukolebwa ku muddo nga olumbugu, essenke, ennanda, oba kanyeebwa. Omuddo guno bwe gutalondwa guddamu ate ne guloka buto. Omuddo bwe gumala okwanjalwa obulungi, gukyusibwakyusibwa ne gukala bulungi. Abamu bagwokya abalala baguleka ne guvunda. Eky’okuguleka ne guvunda kye kisinga obulungi. Ekifo ekyanjaddwa obulungi kibaza nnyo emmere kubanga ettaka eryo liba limerenguddwa bulungi; amazzi galiyingiramu bulungi ekimera ne kiriisibwa bulungi era ne kyeyagala.

Okuwala/okuwalakata: kuno kwe kulima omuddo ng’enkumbi eringa esikibwa obusikibwa ku ttaka. Kino kitera kukolebwa mu luggya, ku lusalosalo, oba awantu awakaluba ennyo; kitera kuba mu kiseera kya musana. Omuddo oguwalibwa gutera kuba nga mumpi ddala.

Okukoola: kwe kuggya omuddo oguteetaagibwa mu bulime. Okukoola kukolebwa okutaasa ebirime ebyasimbibwa obutafuuyibwa muddo, ate era n’okugonza ettaka ekimera ne kisobola okusika obulungi amazzi mu ttaka.

Ezimu ku ngero n’enjogera ezigendera ku kulima

kyusa

Ge masaawa ge makabala? Olunaku omulimu lw’asaawa, si lw’akabala. Enjogera eno ekozesebwa ku muntu ayagala okwanguyiriza okukola ekintu, ng’olukitandika ayagala kiggweerewo.

Kulika empewo y’enkya: eno y’engeri y’okwebazaamu omuntu akuwadde ekirime nga kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa n’ebiringa ebyo.

Abataka abaagalana be balima akambugu: luno lugero olwoleka amaanyi g’obumu. Olumbugu, muddo ogulimibwa nga gulondebwa bulondebwa. Mu kulondebwa okwo, gutwala obudde bungi, ate gukooya kubanga alima abeera akutamye ebbanga lyonna ate nga agenda mpola. Kye kiva nno kyetaagisa okubeera ababiri oba okusingawo ne mulyoka musobola okugulwanyisa.

Ow’amaanyi takeera: eno njogera ekozesebwa ku muntu agenda okulima n’atakeera. Kisubirwa nti buli muntu anaalima olubimbi ne lunyuma ate ne luwera, akeera ku makya, n’annyuka awo omusana nga gukaalaamye, so si kulinda musana ne gukaalaama ate ggwe n’olyoka ogenda okulima. Enjogera eno erimu okujereegerera n’okukiina.

Bino bitegeeza ki?

kyusa

Olubimbi; okusalira; okubikka; okusiga; okukoola; empangi; embaali; omuyini; okuwanga; empangi.