Okulowooza (thinking)okusinziira ku Charles Muwanga.

Man thinking

Okulowooza kikolwa kya mulengera (mental process), obusobozi obw’okutondeka ebirowoozo (formation of thoughts). Okufaanana n’ensolo endala, omuntu yenna alowooza ku buli kintu ky’asegeera ne sensa ze ettaano. Buli muntu alowooza ku bintu, ebisolo, abantu, ebifo, enkula, na buli kintu kyonna awatali nsonga lwaki akola kino. Kino akikola ng’ enneeyisa engerekere (instinctive behaviour) awatali kukyefumiitirizako.

Wano omuntu atondeka ekirowoozo (forms a thought) awatali fakikya (facts) oba bukakafu. Kino kitegeeza nti mu mbeera emu, okulowooza kikolwa ekyetaagisa omuntu okutondeka ekirowoozo ku mbeera eriwo nga bw’eri awatali kugyefumiitirizaako.

Guno gwe mutendera ogusooka ogwetaagisa buli muntu yenna okusoobola okukozesa obusobozi bw’omulengera gwe (fakalita z'Omulengera) gwe obulala obw’enkozesa y’obwongo.

Okulowooza kuno n’ebikolwa ebigerekere (instinctive acts) oba okumanya okwembagirawo (intuition) tekiri mu bantu bokka, wabula kuli ne mu nsolo ezitalina bwakalimagezi (magezi ga mutendera gwa waggulu) tebiri ku mutindo nga ogw’omuntu. Ziraba ekintu ne zikirowozaako nga bwe kiri kyokka zzo zikoma awo tezeeyongerayo kwefumiitiriza oba kukyefumiitirizaako yadde okwongera okukinoonyerezaako ne sensa endala.

Buli muntu asobola okulowooza naye abantu abamu bakoma ku kulowooza, tebeyongerayo kwefumiitiriza, balowooza bulowooza awatali kwefumiitiriza. Bakkiririza mu fakikya (facts) oba ebiriwo awatali ku byekebejja na kwekenneenya. Fakikya zino oba ebiriwo nga bw’aba abisegedde, yee abitwala ng’amazima era tafaayo kubyekebejja na kubyekenneenya kusingako awo.