Okutana
Okutana kuleetebwa akawuka akayitibwa "Clostridium tetani" akatera okusangibwa mu ttaka, mu nfuufu oba mu bintu ebivundu era nga kayingira mu mubiri singa osalibwa ebintu kyonna ekyatalagga oba ekikyafu. Kino kireetera okukola obutwa mu mubiri ekireetera omuntu Okutana. Obulwadde buno tebusaasaanyizibwa bantu. Okutana okusobola okutangirwa nga tugema abo abalina obulwadde buno nga bamalayo ekipimo ky'eddagala ng’abasawo bwe balagira. Omuntu alina ekiwundu alina okukikuuma nga kiyonjo. Obulwadde buno obw'okutana buli mu buli nsi naye businga nnyo mu bitundu ng’embeera y'obudde ya bbugumu nnyo. Ebitundu eby’ebbugumu bibeeramu obuwuka bungi mu ttaka. Mu 2013, abantu abafa obulwadde bw'okutana baakendeera okutuuka Ku bantu 52000 okuva ku bantu 356000 mu 1990. Obulwadde buno bwazuulibwa Antonio Carle ne Giorgio Rottone mu 1884 mu ssetedekero ya Turin n'eddagala lyabwo ne lizuulibwa mu 1924.
Obubonero
kyusaOkutana kutandika n'obukosefu mu binywa era nga kireetera okulumizibwa mu kifuba, mu bulago, mu lubuto, okusannyalala wamu n'obuzibu mu kussa. Obubonero obulala mulimu nga okutuuyana ennyo, okusannyalala, okuzimba, omutima okukuba ennyo n'okufuka okwabuli kaseera.
Ebiviirako okutana
kyusaOkutana kuleetebwa akawuka akayitibwa "Clostridum tetani" akaleetebwa ebintu ebitalavvu naddala emisumaali oba ebyuma ebirala ebiyinza okusala oba okufumita omuntu. Obulwadde buno businga kukwata bantu bataagemebwa oba abataamalayo kipimo kya ddagala. Busobola era okuva ku bifo ebikcaafu n'obubi bw'abantu, obw'ebisolo ng’ente, embuzi, endiga, enkoko n'ebirala.
Engeri y’okubuziyiza
kyusaOkutana kuyinza okuziyizibwa nga tugema ne "tetanus toxide". Abantu abakulu balina okufuna eddagala buli luvannyuma lwa myaka 10. Mu baana abali wansi w'emyaka omusanvu, eddagala lyagatibwako ne DTT/DTAP eririmu n'okugema akafuba. Mu bantu abakulu n'abaana abasukka emyaka omusanvu eddagala lya "TD" lye likozesebwa