Okutebenta n'okutolontoka(acceleration and Momentum)

Okutebenta (acceleration) n'okutolontoka(Momentum)miramwa egibaddewo mu luganda nga si misonjole bulungi. Amateeka ag'enzimba y'emiramwa gatukkiriza okugaziya amakulu g'ebigambo ebiriwo okusobola okuteekawo emiramwa gye twetaaga mu sayansi.Kati nno weetegereze:

okutolontoka
Okutebenta

(i)Okutebenta (acceleration) (ii)Okutebentuka (deceleration) (iii) Entolonta(momentum) (iv) Okwongeza entolonta (increasing momentum).

Manya :

(a)"Okutebenta" oba "entebenta"(acceleration) kiba "kigerageranyo kya nnyongeza mu ng'enda" (late of change of momentum) (b) Okutebentuka oba entebentuka(Deceleration) "kigerageranyo kya nkendeeza mu ng'enda"(late of change of velocity) (c)"Okutolonta"(momentum) "kigerageranyo kya nkusa mu ntebenta(late of change of acceleration)

Wano nno bw'otaba omutitiizi obivaako buvi anti waliwo abantu abamu nga tebagumiikiriza nkyukakyuka abaadde bannagira nga bwendi mu kukyusa oluganda. Bano mbagamba kimu nti buli lulimi lukulaalulana mu bigambo , ne lufuna ebipya ate ne lukaddiya ebitakyatuukana na mulembe ogubaawo.

Kati guno mulembe gwa sayansi, bwe tuba nga tubadde tukozesa ebigamba bitaano, okutebenta, okutebentuka, okutolontoka, n'okufumuuka nga byonna byekuusiza ku "kuva"(motion) ,kisaanidde okubikwataganya n'ebyolungereza ebya sayansi ow'okuva(science of motion)era buli kigambo kifune ensonjola eya sayansi mu kifo ky'okwewola ebiva mu nnimi engwira.

Bivudde eri Muwanga Charles.