Okutya
Okutya
Okutya kika kya kukulungutana okunnyonnyolwa n’okutya okutaggwawo abantu kwe babeera nakwo eri ekintu oba embeera. Embeera eno ey’okutya ereetawo omuntu okufuna okutya ku kintu era ne kumuwangaaliramu okusukka emyezi mukaaga. Omuntu alina embeera eno yeewalira ddala okusemberera embeera oba ekintu ky’atya, n’asukka nnyo ku buwanvu omuntu eyeewala ekintu kino okumutusaako obulabe bwe yandibaddemu okuva we kiri. Singa ekintu oba embeera etiibwa ebeera nga tesobola kwewalika, kino kireetera omuntu akitya okubeera nga tateredde. Eri abo abatya ebiwundu oba omusaayi basobola okuzirika. Waliwo okutya okuva ku mbeera y’ekitundu omuntu mw’abeera nga tagyagala wabula nga talina ngeri gy’asobola kugivaamu. Ebiseera ebisinga abantu bafuna okutya ku bintu oba embeera eziwerako.
Embeera z’okutya zaawulwamu ebika eby’enjawulo okuli; okw’ebintu eby’enjawulo, okw’embeerabantu, n’okuva ku bwetoloole bw’omuntu. Okutya okuva ku bintu mulimu; okuva ku bisolo ebimu, obutonde bw’ensi, omusaayi oba ekiwundu n’embeera ez’enjawulo. Oktya okusinga okulabika ennyo kwe kw’emisota, nnabbubi n’okubeera n’entengereze. Okutya kunooluusi kujja oluvannyuma lw’omuntu okufuna ekifaananyi ekibi ku bintu ebyo. Okutya kw’embeerabantu kwe kutya omuntu kw’afuna olw’okutya okulamulwa abantu abala ababalaba. Okutya okw’obwetoloole kujja olw’okuba ng’omuntu awulira ng’okuva mu mbeera gyalimu si kyangu.
Okutya ebintu eby’enjawulo kulina kumalibwawo ng’omuntu atya ebintu ebyo abeera ng’amanyizibwa okulaba ebintu by’atya okutuusa ng’okutya ku muweddemu. Obujjanjabi tebwetaagisa mu kika ky’okutya kino. Okutya okw’omu mbeerabantu n’okwo okuva ku bwetoloole bw’omuntu kwo kujjanjabibwa nga kugattiddwako okubuulirira n’eddagala. Eddagala ery’eyambisbwa mulimu antidepressants, benzodiazepines, oba beta-blockers.
Okutya okw’ebintu eby’enjawulo kukosa abantu ebitundu 6-8% mu nsi ey’obugwanjuba n’abantu ebitundu 2-4% mu ssemazinga wa Asia, Africa ne Latin America mu mwaka ogumu. Okutya okw’embeerabantu kukosa abantu ebitundu 7% mu America n’ebitundu 0.5-2.5% mu bitundu by’ensi ebisigadde. Okutya okuva ku bwetoloole bw’omuntu kukosa abantu ebitundu 1.7%. Abakazi okukosebwa kwabwe kukubisibwamu emirundi ebiri mu kw’abasajja. Okusinga kibeera wakati w’emyaka 10-17. Obungi bw’abantu abafuna embeera eno gukka buligye beeyongera okukula. Abantu abalina embeera ey’okutya babeera n’emiksa mingi okwetuga.
Wano ewaffe mu Uganda abakyala bamanyiddwa nnyo ng'abatya ebisaanyi ne nnabbubi naye ng'okusinga ennyo ebisaanyi. Wabula waliwo n'abasajja abatya ebisaanyi. Okutya okw'engeri eyo, oli bw'alaba ekisaanyi awulira nga n'omubiri gulinga ogumera olutiko. Abalala batya ebiyenje.