Okutya[[1]] kimu ku bubonero bw'okukulungutana nga kireetebwa embeera egwa obugwi. Omuntu alimu Okutya abeera n'obuzibu nga okutuuyana, okukankana n'okuziyira. Obubonero buno obuleetebwa Okutya tebutera kubandaala ddakiika esukka emu.

ekyiffananyi kyomwana ngattidde

Ekiviirako obuzibu bw'okutya tekimanyiddwa wabula nga kigambibwa nti abamu kiviira ddala mu maka gye bava. Ebimu ku bisuubirwa okuviirako okutya mulimu okukozesa ebintu nga sigala, Okukakaalukanyizibwa ku bwongo n'amaka abantu gye bava.

Okutya kusobola okujjanjabibwa nga abantu babuddaabudibwa wamu n'okukozesa eddagala lya Cognitive behavior therapy nga kino kye kika ky'okubudaabuda ekitera okuweebwa abantu abalina Okutya.

Okutya kukosa ebitundu 2.5% Ku bulamu bw'omuntu. Kino kitera kutandikira ku myaka gy'okuvubuka oba nga omuntu yakatqndika emyaka gy'obukulu. Obuzibu buno tebulabikira nnyo mu baana wabula ate buli nnyo mu bakazi okusinga abasajja.