Okuva ku Mwenge
Okuva ku omwenge[[1]] kabonero akaggyawo ng’omuntu akendeeza ku mwenge gw'abadde anywa okumala ebbanga eddene ng’agukozesa. Obumu ku bubonero bw'omuntu akozesa omwenge kuliko nga okukankana, okusesema, okutuuyana, omutima okukubira okumukumu n'ebirala. Obubonero buno butandika okweyoleka okuva essaawa mukaaga nga omuntu anywedde omwenge era ne bumala wakati w'essaawa 24 ku 72.
Omuntu okuva ku mwenge kiyinza okuba ekigenderere oba ekitali kigenderere. Ekimu ku biyinza okuviirako omuntu okuva ku mwenge kye kitundu ky'obwongo ekya "GABA receptors" okukendeeza ku ngeri gye kikolamu emirimu gyakyo.
Obujjanjabi obuweebwa omuntu avudde ku mwenge buyitibwa "Benzodiazepines". Obujjanjabi obulala businziira ku bubonero obulala omuntu bw'alina. Omuntu avudde ku mwenge alina okufuna eddagala lya "Thiamine" buli lunaku wamu n'okukendeeza ku sukaali gw'anywa. Mu nsi ezaakula edda, abantu ebitundu 15% banywa omwenge era nga ku bano ebitundu bina biva ku mwenge. Abantu ebitundu 15% bafa olw'ebirwadde ebibakwata oluvannyuma nga bavudde ku mwenge.