Gakuweebwa Charles Muwanga .Okwekwasawaza (Bonding)

Unconventional hydrogen bonding in transition metal hydrides complexes

Essomo ly’essomabuziba okusinga lyekuusiza ku kwekwasawaza oba enkwasowazo z’obuziba (atomic bonding). “Enkwasowazo z’obuziba”(atomic bonding) zibeerawo mu mbeera satu; enkwasowazo ez’ekigabanyo(covalent bonding), enkwasowazo ez’ekivaatiso (ionic bonding), n’enkwasowazo ez’ekyuma(metallic bonding).

Enkwasowazo ez’ekigabanyo zibaawo nga obuziba bubiri bwegabanya obusannyalazo bwe bumu ate nga ensikirizo(attraction) wakati w’obuziba yenkana n’ensidiikirizo (repulsion). Mu nkwasowazo ez’ekivaatiso, vatomu(ions) bbiri ezirina kyagi eza kikontana kyokka nga zenkana mu kigero zekwata wamu olw’ensikirizo z’entagenda ey’amasannyalaze (electrostatic attraction). Ebisookerwako mu ssomabuziizi byekuusiza ku kutegeera bisookerwako ku buzimbe bw’akaziba ne kalonda w’obuziba.

N’olwekyo kyetaagisa okumanya nti obuziba bukolebwa busannyalazo, bukontanyo, ne nampawengwa. Era olina okukimanya nti okuba nga enzitoya (mass) y’akaziba esangibwa mu buziizi bw’akaziba(nucleus of the atom) yekuusiza ku binnyonnyozo bya bukontanyo(protons) na nampawengwa(neutrons). Era wetaaga okumanya nti obuziizii, yadde bulina enzitoya nnene , ebugaana obubangirivu(volume) butono nnyo obw’akaziba. Okumanya kino kikuyamba okukuteekateeka okumanya ebibeerawo mu nkwasowazo ez’ekikemiko (chemical bonding).