Okwetegeera (Selfconsciousness )

Okwetegeera (Self-consciousness) okusinziira ku Charles Muwanga !

Svetlana reflects herself in the mirror

Omuntu kalimagezi alina engerekera y’okwetegeera (the instinct self - consciousness) ng’omuntu aliwo olw’okuba omulengera gwe (obwongo bwe) gulina obusobozi okumumanyisa nti w’ali era mulamu.

Obutafaanana bisolo, omuntu alina obutonde obw’okwetegeera era yeebuuza ku kubaawo kwe, gye yava, ne gy’alaga, ensonga lwaki yefaako okutumbula embeera y’obulamu bwe n’okumanya oba okuteebereza ekigendererwa kya Katonda gyali.

Okwetegeera era kitegeeza okumanya embeera z’obuntu ennungi n’ezitali nungi. Mu mbeera embi omuntu z’ayinza okubeeramu mulimu obutayagala kugambwako, enge, empiiga, okunyiiga okunyigirizibwa, okwekubagiza, obutayagala kubuulirirwa, obusunguwavu, obutasaasira, obutasonyiwa, obutujju, okwagala ennyo ebyamasanyu, okwerowozaako wekka n’endala. Okwetegeera kitegeeza kubeera waggulu wa mbeera zo ez’obuntu nga ozifuga mu kifo kya zzo okukufuga.


Okwetegeera n’olwekyo kitegeeza kumanya nti:

• W’oli, oli mulamu, oli mu ntabaganya era olina entabaganyo mwe wesanga, n’olwekyo olina okwefaako n’okufa ku bantu banno.

• wetaaga okuyambibwa, nawe yamba abalala,

• wetaaga okwagalwa, nawe laga abalala okwagala n’okufiibwaako

• wetaaga obulamu naawe kuuma obulamu bw’abalala

• toyagala kulumizibwa nawe tolumya balala

• tewetaaga kunyigirizibwa naawe tonyigiriza balala,

• Tewetaaga kutulugunyizibwa nawe totulugunya balala,

• Wetaaga okukulaakulana nawe yamba abalala okukulaakulana.

• Si ggwe weetonda; manya era osinzenga Katonda wo.

Okwetegeera kitegeeza kumanya enjawulo eriwo wakati w’embeera ez’obuntu ennungi n’embi ozikakkanye zituukane n’ezo ezetaaga okukusobozesa okutabagana obulungi n’abalala.