Oliver Wonekha
Oliver Wonekha Munnayuganda munnabyabufuzi era Akiikirira Eggwanga lye, ng'aweereza nga Ambasada wa Uganda mu People's Republic of China, okuva mu 2022.[1] Yaweerezaako nga Ambassada wa United States of America, okuva mu 2013, okutuusa mu 2017 n'oluvannyuma nga Kaminsona ow'okuntikko mu Ggwanga lye Rwanda wakati wa 2017 ne 2022.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
kyusaWonekha yazaalibwa mu kifo kaseera kano Disitulikiti y'e Bududa, c. 1951. Alina Diguli eya Bachelor of Science okuva ku Ssettendekero wa Makerere, mu kibuga kya Uganda ekikulu ekya Kampala. Era alina Dipuloma ey'enyongereza mu Busomesa eya Postgraduate Diploma in Education, nga n'ayo yagifunira Makerere.
Eby'emirimu gye
kyusaYakolerako mu Kkampuni ya kkaawa okumala emyaka 30, nga yatandikira mu mwaka gwa c. 1971, nga tannaba kuyingira by'abufuzi.[3] Yakolerako mu kampuni ya Coffee Marketing Board nga tekyaliwo n'oluvanyuma Kkampuni y'obwannanyini eya Kyagalanyi Coffee Limited.
Emirimu gye egy'ebyobufuzi
kyusaMu 2011, Wonekha yayingira mu by'obufuzi bya Uganda nga yesimbawo ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Mbale, mu Paalamenti ya Uganda. Yawangula era y'aweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana (2001–2006). Mu 2006, y'esimbawo ku kifo ky'omubaka omukyala akiikirira Konsityuwensi y'abakyala mu Disitulikiti y'e Bududa ku kaadi y'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Yawangula era yaweereza mu Paalamenti 9th (2006–2011).[4] Mu kalulu k'okukyusa obukulembeze aka 2011, yafiirwa ekifo kye.[5] Oluvanyuma lw'okuwangulwa mu Paalamenti ya Uganda, yesimbawo okwegata ku kakiiko ka East African Legislative Assembly wabula n'awangulwa.
Emirimu gye ng'akiikirira Eggwanga
kyusaMu 2013, yatumibwa okubeera Ambasada wa Uganda mu United States, nga yawaayo ebiwandiiko bye eri Pulezidenti Barack Obama nga 22 Ogwomusanvu 2013. Mu Gusooka 2017, yakyusibwa n'atwalibwa e Rwanda, nga Ambasada wa Uganda mu nsi eyo, nga yali adda mu bigere bya Richard Kabonero eyali akyusiddwa okutwalibwa mu Republic of Tanzania.[6] Yawaayo ebiwandiiko bye eri Pulezidenti Paul Kagame, nga 11 Ogwekkumi 2017. mu 2022 yafuna ekifo ky'alimu kati nga Ambasada wa Uganda mu China [7]
Laba na bino
kyusaEbijuliziddwamu
kyusa
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-07-27. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.newvision.co.ug/news/645278-obama-receives-wonekha-as-ugandan-envoy.html
- ↑ http://www.allgov.com/news/appointments-and-resignations/ambassador-from-uganda-who-is-oliver-wonekha-140510?news=853112
- ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/new-district-woman-mps-to-be-sworn-in-on-september-12th
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Foreign-service-chokes-with-failed-politicians/-/689844/1622710/-/3g6jam/-/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-Dr-Kiyonga-Uganda-s-ambassador-Beijing/688334-3789164-l1e8sgz/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1463469/wonekha-credentials-kagame