Olujegere n’ekitimba ky’emmere

Ebisolo n’ebimera ka kibe kinene oba kitono kitya buli kimu kirina engeri gye kyesigamya okubeerawo kwakyo ku kisolo oba ekimera ekirala. Kino tusobola okukirabira ku njuki n’ebimuli by’ebimera, ebisolo ebirya omuddo, abantu abalya ennyama y’ebisolo n’ebirala. Kwe kugamba buli kimu kirina engeri gye kyesigama ku kinne waakyo.

Food Chain

Olujegere lw’emmere lwe twogerako wano, y’engeri amaanyi gye gatambuzibwamu okuva mu kitonde ekimu okudda mu kirala nga gayita mu mmere. Kibeera kirungi okumanya ebikola olujegere luno okusobola okwewala okusaanyaawo oba okwonoona ebyo ebirutambuza.

Olujegere lw’emmere lutandika n’ekiseera ebimera ebyakiragala we bikolera emmere yaabyo era nga mu kiseera kino ebitonde bingi biganyulwamu. Okugeza ensirianyi n’ebisolo birya omuddo, abantu balya ebibala era nga wano amaanyi g’emmere we gaviira mu bimera okudda mu bisolo.

Ekisolo ekimaze okulya ebimera, bwe kiriibwa ekisolo ekirala ng’olwo amaanyi agakibaddemu gadda mu kisolo ekyo. Ate amaanyi agabibaddemu bwe gatuuka mu kisolo ekirala gakyusa ekika.

Olujegere lw’emmere lutulaga entambuza y’amaanyi n’ebiriisa okuva mu kitonde ekimu okudda mu kirala. Omutendera ogusooka by’ebimera okuzaala amaanyi, olwo ku mutendera ogwa waggulu ebitonde ebiri by’ebimera bifuna amaanyi ago era nga gatambula okuva mu kitonde ekimu okudda mu kirala.

Ebimera ebyakiragala tebikoma ku kuwa lujere luno ntandikwa wabula era bituyamba n’okutuwa empewo ennungi gye tussa, engoye ze twambala, amaka g’ebisolo by’omu nsiko, okulongoosa ebbanga nga binuunamu empewo embi n’ebintu ebirala ng’embaawo ezikolebwamu ebibajje.

N’olwekyo tulina okutegeera ensegeka y’ebitonde ebitwetoolodde nga tufaayo ku bungi bw’ebimera ebirimu n’okulaba nga tebikosa kubeerawo kwa bitonde birala ebiri mu kifo ekimu nabyo. Mu bibangirizi ebibuutikiddwa obutonde obw’omuddo, ebimera bibeera bingi okusinga ebitonde ebirala sso ng’ate mu kibira ebitonde ebirala bibeera birwanira ekifo n’ebirime wabula nga kino kyenkanyankanyizibwa bulungi mu nsengeka kinnabutonde.

Food Web

Wasobola okubaawo enkolagana ey’enjawulo wakati w’ebitonde eby’enjawulo mu kifo ekimu, ng’ekimu kiwaniririra okukula kw’ekirala ate n’ekyo ekikuze ne kiwanirira okubeerawo kw’ebitonde ebirala.[1]

  1. http://wwf.panda.org/about_our_earth/teacher_resources/webfieldtrips/food_chains