Olususu
Lino lye ddiba eribikka ennyama n'amagumba mu bisolo byonna ebirina amagumba. Lulina emigaso mingi ku muntu era nga lwe lumu ku biyinza okulaga oba omuntu ali mu mbeera nnungi oba obulamu bwe bwe buliko ekibuluma. Kino kisoboka okweyoleka mu ngeri ez'enjawulo omuyinza okuba okusiiwuukirira, okubutuka, okufuna amabwa n'ebirala nga bimu ku bino bitwalibwa ng'endwadde z'olususu Enddwande zaalwo ez'enjawulo zirina enzinjanjaba ezirambikiddwa obulungi mu Kizungu kyokka ne mu kinnansi, waliwo ebintu ebirowoozebwa nti singa byeyambisibwa, bisobola okuyamba mu ku lutereeza okugeza okwettanira ebiryo.