Omubalanguzi(mathematician)
Okuva mu mulamwa gw'ekibalangulo(mathematics),tufuna emiramwa nga:
(a)Okubalangula(to calculate)
(b)Okubalanguza(to solve)
(c)Okubaza ( short for "okubalangula or "okubalanguza")
(d)Ekibazo(solution to a mathematical solution)
(e)Ekibalanguzo(Formula)
(f)Obubalanguziso(operations)
(g)Ekibalirizo(Arithmetic)
(h)Omubalanguzi(mathematician)
Omubalanguzi(mathematician) ye kakensa mu sessomo ly'ekibalangulo.
Bivudde eri Muwanga Charles
Abamu ku Babalanguzi abaatikirivu mu byafaayo mulimu:
1.Isaac Newton
2. Payisoggolaasi
3. Galileo Galilei
n'abalala
Wano mu Uganda Omugenzi ,Omukenkufu J.C.Kiwanuka ye yasooka okufuuka "Omukenkufu w'ekibalangulo"(Professor of Mathematics). Ba kakensa abalala ababalanguzi mulimu:
1.Omukenkufu Luboobi
2.Omukenkufu Mugambi
3. n'abalala bangi.
Eky'ennaku kwe kuba nti abakenkufu abo bonna si banyukufu mu kibalangulo ekiri mu nnimi zaffe ez'ekinnansi. Kino kati kigenda kufuuka lufumo.