Okusinziira ku Charles Muwanga , mu luganda olwa sayansi "omunonooza" ye kakensa anonooza amateeka ga sayansi n'ekibalangulo okuzimba ebintu eby'enjawulo ebyetaagibwa okugonza obulamu.

omunonooza

Omulamwa guno gye gimu ku gizimbiddwa Muwanga Charles ng'agaziya amakulu(semantic extension) ag'ekikolwa eky'okunonooza mu sessomo ly'ekinonoozo(engineering).

Mu luganda olw'omulembe Omutebi amakulu g'ekinonoozo awamu n'omunonooza gavaayo mangu nga otegedde ki ekinonoozebwa, amateeka ga sayansi n'ekibalangulo.


Abanonooza (Mechanical Engineers)


Abanonooza ab’ekitambuzo bazimba ebintu ng’ennyanguyirizi n’ebikozesebwa ebigonza embeera z’abantu. Ekigambo ekikulu wano kwe “kuzimba”.

“Abanonooza eb’ekitambuzo” (mechanical engineers) beyambisa buli kibaddewo eky’ekuusiza ku kitambuzo (mechanics) omuli namuziga, ebikono, ensuubo, kalinjola, seppulingi, ne pata okukola ennyanguyirizi nga emotoka, ennyanguyirizi z’amalimiro (farm machinery), ebikozesebwa awaka, obukokolo (robots), n’ebikozesebwa mu makolero.

Abanonooza era babaga ebitundu by’ebipango (sub-assemblies) eby’ennyanguyirizi ezo, omuli n’ensengekera ezizitetenkanya (control systems), ebikozesebwa, n’ebitundu by’ennyanguyirizi kinnakimu.

Abanonooza bakozesa matiiriyo ez’enjawulo nga ebyuma, “ebyokubumba” (ceramics), ebya pulasitika n’ebirala. Kyetaagisa abanonooza okumanya enneeyisa oba ebinnyonnyozo bya matiiriyo ez’enjawulo.

Okumanya “ebinnyonnyozo”(properties) ebya matiiriyo zino, gamba ng’obukwafuwavu (density) bwazo, obugumu, amaleego (tensile strength), embavu eyeweta, kiyamba abanonooza okubaza engeri matiiriyo zino gye zineeyisaamu mu mbeera ez’okunyigiriza nga ekikkatiro, kawereege, okuweta oba okunyooleza awamu ne mu mbeera z’obudde ez’enjawulo eza tempulikya, akanyigirizi, ggaasi ezifumya (corrosive gases), ebikulukusi (liquids) n’olubugumu (radiation). Era balina okubaza engeri matiiriyo gye zinaaberamu oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu.

Abanonooza balina okuba n’obumanyirivu okuva mu masomo g’ekinonoozo ag’enjawulo, omuli “ekinonoozo eky’ebizimbibwa” (civil engineering), ekinonoozo ky’enzirusi ez’obwengula, ekinonoozo kya kompyuta, ekinonoozo ky’amasannyalaze, n’amalala.

Obusobozi obwetaagisa ennyo mu kinonoozo buva mu kunnyonnyoka essomabutonde (physics), ekibalangulo (mathematics), n’obuzimbe awamu n’ebinnyonnyozo bya matiiriryo ez’enjawulo.