Omupiira ogw'ebigere, ogumanyiddwa ennyo nga omupiira oba endiba, muzannyo gwa ttiimu oguzannyibwa wakati wa ttiimu bbiri nga buli emu erimu abazannyi 11. Omuzannyo guzanyibwa nga basamba omupiira okwetoloola ekisaawe era nga ekisaawe ky'omupiira kiba n'enjuyi nnya. Ekiruubiirirwa ekikulu mu muzannyo guno lwe luuyi olumu okuteeba ggoolo ezikira ku luuyi olulala lwe luba luvuganya nalwo. okusobola okuteeba oba okunyweesa ggoolo tiimu emu eyina okusaza laama / olukoloboze / layini eba yeetoloddwa ekifo ekirambe oluusi nga kiriko fuleemu oba akatimba era ng’ekuumibwa omukuumi wa ggoolo owa ttiimu evuganya.

ekifaananyi ekiraga ggoolo y'omupiira ogw'ebigere n'omukuumi waayo


Omupiira ogw'ebigere mu mbeera ezabulijjo guzannyibwa okumala eddakiika 90. Zino zaawulwamu ebitundu bibiri eby'eddakiika 45 buli kimu era nga oluvanyuma lw'ekitundu kyomuzannyo ekisooka abazannyi bawummulamu.Omuzannyo gw'omupiira gutwalibwa okuba nga gwe muzannyo ogusinga okuba omuganzi okwetoloola ensi era nga gwetabwamu abazannyi abali eyo mu bukadde 240 okwetoloola ensi[1]

Omupiira ogwatuumibwa erinnya Jabulani. Guno gwe gwazanyibwa mu World Cup eyasooka ku lukalu lw'omuddugavu Afirika mu mwaka 2010 e South Africa

Omuzannyo gw’omupiira guzannyibwa okusinziira ku Mateeka g’Omuzannyo, era nga amateeka gano yadde gazze gakolwamu ennongosereza gabaddewo okuva mu mwaka 1863 era nga galabirirwa era negakuumibwa IFAB okuva mu 1886. Omuzannyo guno erinnya lyagwo ligusimbuliza ku mupiira omwekulungirivu ogusambibwa abazannyi okugwetolooza ekisaawe.

Ebibinja byabazannyi ebiba byekozeemu tiimu biruubirira okuyingiza omupiira mu ggoolo ya ttiimu endala era nga ttiimu esinga endala okusaza layini ya ggoolo emirundi eminji yewangula omuzannyo oluvannyuma lw'obudde obugere[2]. Mu kiseera nga omupiira guzannyibwa, abazannyi yadde basinga kukozesa bigere byabwe okutambuza, okugaba, oba okusimula omupiira, naye era bayinza okukozesa ekitundu ekirala kyonna eky’emibiri gwabwe, okuleka ekitundu eky'omukono(Kino ky'ekitundu ky'omubiri okuva ku kibegabega okutuuka ku kibatu n'engalo). Abakuumi ba ggoolo bokka (bu luuyi luba n'omu mu muzannyo) be bakirizibwa okukozesa emikono gyabwe nga bazannya kyokka nabo kino bakikolera mu ntabwe(box) wokka.[3]

Yadde nga ggoolo ebalibwa okuba nga eteebeddwa ssinga omupiira gusala olukoloboze mu kifo awali ggoolo, waliwo embeera esobola okulemesa ggoolo okubalibwa, okugeza singa oyo ajiteeba aba 'akuumye'(okuba nga asangiddwa mabega w'omuzannyi asembayo wa tiimu gyavuganya nayo), oba nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa mu lulumba oluvuddemu okuteeba ggoolo. Mu muzannyo guno, tiimu bwezisibagana kiyitibwa okukola amaliri era okusinziira ku mpaka kino mwekibeereddewo omupiira gusobola okuggwa gutyo oba omupiira okugenda mu budde obw’enjawulo(obwongerwamu okusukka ku ddakiika 90) oba okugenda mu kusimulagana peneti okufuna omuwanguzi [4]

Mu nsi yonna, omupiira gw'ebigere gufugibwa FIFA . bwova ku mutendera gwensi yonna ogwa FIFA, waliwo ebibiina ebirala mukaaga nga bivunaanyizibwa ku zi ssemazinga: AFC, CAF, CONCACAF, CONMEBOL, OFC, ne UEFA .[5] Ku bibiina bino, CONMEBOL eyatandikibwawo mu 1916 y’esinga obukadde. Buli ggwanga ku mutendera ogwa ssekinnoomu lirina ekibiina kyalyo ekiddukanya ensonga z'omupiira okugeza nga FUFA mu Uganda oba The FA e Bungereza. Mu mupiira mulimu empaka ez'enjawulo era ezitegekebwa ku mitendera egyenjawulo naye ezisinga okuba ku mutendera ogwa waggulu n'obuganzi ze; FIFA World Cup (ekikopo ky'ensi yonna) ne FIFA Women's World Cup (ekikopo ky'abakyala eky'ensi yonna). Ekikopo ky’ensi yonna eky’abasajja kyekimu ku mizannyo ejisinga okulabibwa mu nsi yonna, era nga kivuganya butereevu n'emizannyo gya Olympics . [6] Ku mutendera ogwa kirabu (ezitali z'amawanga) UEFA Champions League ne UEFA Women’s Champions League, nga zonna mpaka ziwakanirwa kirabu zi kirimegga ku lukalu lwa Bulaaya z'empaka ezisinga obuganzi[7]

Amannya ag'enjawulo

kyusa

Omuzannyo guno mu lulimi oluganda guyina amannya agawerako era nga abamu batera okuguyita eddiba, endiba, omupiira.

Ebyafaayo by'omuzannyo ku ddaala ly'ensi yonna

kyusa

Empaka z’omupiira ezisinga obukadde mu nsi yonna ze FA Cup, ezaatandikibwawo omuzannyi w’omupiira era nga yazannyanga ne omuzannyi wa cricket Charles W. Alcock, era nga zatandika okuwakanirwa(okuzannyibwa) mu mwaka 1872. Ku mutendera ogwamawanga Omuzannyo omutongole ogwasooka gwaliwo mu 1872, wakati wa Scotland ne Bungereza mu kibuga Glasgowera nga Alcock yeyawoma omutwe mu ntekateeka eno. Bungereza nga eggwanga era lyelirina liigi y'omupiira eyasooka mu nsi yonna, eyatandikibwawo mu kibuga Birmingham mu 1888 dayirekita wa Aston Villa, William McGregor . Liigi eno eyasooka yalimu kiraabu 12 okuva mu Masekkati ne mu bukiikakkono bwa Bungereza . [8]

Abazannyi, ebyuma, n’abakungu

kyusa
 
Diifiri n'abayambi be (mu byambalo ebiddugavu) bebalamula omuzannyo gw'omupiira era tebaba naludda

Buli ttiimu y'omupiira ekirizibwa okubeera nabazannyi abatasukka kkumi n'omu (nga tobaliddeko abo abakozesebwa mu kukyuusamu ), omu ku abo alina okuba mukwasi wa ggoolo . Amateeka g’empaka gasobola okulungamya omuwendo gw’abazannyi ogusinga obutono ogwetaagisa okukola ttiimu era nga gutera okuba musanvu.[9]

 
Ensengeka y'abazannyi ba Uganda n'aba Misiri mu mupiira ogwazannyibwa nga 21-01-2017


Ennyambala entongole oba omujoozi abazannyi gye balina okwambala mulimu essaati, empale (okusinga ziba nnyimpi), sookisi, engatto, n’enkampa ezikuuma amagulu , kwossa n'ezambalwa mu ngalo eri abakuumi ba ggoolo . Ebikoofiira ebyambalwa ku mutwe oluusi byabambalwa okwekuuma okufuna obuvune ku mutwe oba obutasajjula obwo omuzannyi byaba alina naye nga ssi bya buwaze. Abazannyi bakugirwa okwambala oba okukozesa ekintu kyonna eky’obulabe eri bo bennyini oba eri omuzannyi omulala, gamba ng’amajolobero, emikuufu, ebikomo oba essaawa. Omukuumi wa ggoolo alina okwambala engoye ezawukana n'ezo banne zebaba bambadde.[10]

Ensibuko y'omupiira mu Uganda

kyusa
 
Omuzannyi wa Uganda Alpha Ssali mu mujoozi gwa tiimu y'eggwanga eyabali wansi w'emyaka 20 omutongole

Ebyafaayo by'omupiira mu Uganda ebitongole okusinziira ku biwandiiko bitera okujuliza omwaka 1897 nti gwegwatandiikiriza omuzannyo guno wano ewaffe ku butaka. Era okusinziira ku biwandiiko bya National Council of Sports ebiri ku mutimbagano gwayo Omwami omungereza Pilkington yatandikiiriza okuyigiriza Abaganda omuzannyo guno ku kasozi Namirembe mu Kampala. Mu bayigirizibwanga mwalimu n'abakungu mu Bwakabaka bwa Buganda kwossa n'abalangira oluusi abajjanga nabayambi baabwe okubasitulira zi manvuuli omusana guleme kubookya oba okusitula obutebe abalangira batuuleko nga bakooye bino nga kwogasse n'okuba nti abantu Pilkington beyatendekanga omuzannyo amateeka gabalema okukwata byamulumya nnyo omutwe ate oluusi nebimussa enseko. [11] Ekibiina ki FUFA mu biro ebyo ekyayitibwanga Kampala Football Association kyatandikibwawo mu mwaka 1924 okwongera okusobozesa omuzannyo guno okufuna emisinji eminywevu.[12] Omuzannyo guno era gwaganja nyo mu lulyo olulangira era mu zimu ku ezo empaka ezasooka okutegekebwa mulimu ezo ezayitibwanga Kabaka's cup era nga wegwatuukira omwaka 1950 nga tiimu eziri eyo mu 30 zivuganya mu kikopo kino. Kabaka wa Buganda owa 34 Daudi Chwa II era yeyasooka okukulembera FUFA mu mwaka 1924 okutuuka 1934[13]

Laba ne;

kyusa

Omupiira mu Uganda

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://bestdiplomats.org/most-popular-sports-in-the-world/
  2. https://www.thefa.com/football-rules-governance/lawsandrules/laws/football-11-11/law-10---determining-the-outcome-of-a-match
  3. https://www.bundesliga.com/en/faq/all-you-need-to-know-about-soccer
  4. https://web.archive.org/web/20110313194624/https://www.fifa.com/mm/document/affederation/generic/81/42/36/lawsofthegame_2010_11_e.pdf
  5. http://chartsbin.com/view/owq
  6. https://online.jwu.edu/blog/the-worlds-most-watched-sporting-event-unveiling-the-global-phenomenon/
  7. https://artoffootballblog.com/best-soccer-trophies/
  8. https://www.efl.com/about-the-efl/history/
  9. https://www.thefa.com/football-rules-governance/lawsandrules/laws/football-11-11/law-3---the-players
  10. https://www.thefa.com/football-rules-governance/lawsandrules/laws/football-11-11/law-4---the-players-equipment
  11. https://www.ncs.go.ug/funfact/history-football-uganda#:~:text=The%20history%20of%20Football%20in,their%20positions%20nor%20the%20rules.
  12. https://kawowo.com/2021/10/06/a-look-into-ugandas-football-history/
  13. https://www.fufa.co.ug/list-fufa-presidents/