Herbert Mendo Ssegujja (yazaalibwa nga 27 Ogwomwenda 1983) Munnayuganda, musanyusa era munnakatemba azannyira mu linnya lya Teacher Mpamire. Amannyikiddwa nnyo mu kugeegegya Omukulembeze wa Uganda, Yoweri Kaguta Museveni. Y'atandiika n 'elinnya lya Teacher Mpamire.[1][2]

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Ssegujja yazaalibwa mu Kibuga ky'e Mukono, nga 27 Ogwomwenda 1983. Oluvannyuma lw'emisomo gye ku Bbowa Primary School, y'atwalibwa mu Greenlight High School, e Zana, ku luguudo lwa Kampala–Entebbe. Sekendule ye yagimaliririza ku Greenlight High School.

Alina Diguli esooka mu busomesa eya Bachelor of Education okuva mu Ssettendekero wa Uganda asinga obukulu n'obunene Makerere University. Yaweererwa Pulezidenti Yoweri Museveni okusoma mu Pulogulaamu y'okuzannya katemba saako n'okumuwandiika mu Ttendekero ly'abannakatemba erya American Comedy Institute, mu New York City.

Emirimu gye y'akola

kyusa

Ng'omusomesa

kyusa

Mu bulamu bwe obwa bulijjo, Ssegujja musomesa ku Standard High School mu Zana, ze Kilomita10 (6 mi), mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba okuva mu kibuga Kampala.[3] Ng'ali eyo, yafuna omukisa okusomesako ne Arthur Mpamire, eyali omusomesawe ow'ebyafaayo by'ebulaaya okuva mu Greenlight High, nga kw'ono kweyazimbira elinnya lye mwazannyira ku siteegi.

Nga munnakatemba

kyusa

Okuzannya kwe kumulabisiza ku ndaga ez'enjawulo mu Uganda, Zambia,[4] Malawi, Kenya, Tanzania n'amawanga amalala okuva mu Africa.[5][6] Mu 2016, Teacher Mpamire yatuumibwa "omuvumbuzi w'omwaka" mu mpaka za Africa Youth Awards ez'ategekebwa mu Accra, Ghana.[7][8] Era kitundu ku Fun Factory olulaga lw'akatemba olulagibwa buli wiiki ku National Theatre, mu Kampala.[5]

Empaka z'eyetabamu n'Awaadi ze y'awangula

kyusa
Omwaka Awaadi Omutendera Eyawangula Ebyavaamu
2015 Youth Expo Stand-up Comedy Awards Munnakatemba asinze Teacher Mpamire Yawangula
2016 Africa Youth Awards Omuvumbuzi w'omwaka Teacher Mpamire Yawangula
Rising Star Awards Munnakatemba w'omwaka Teacher Mpamire Yawangula
Starqt Awards Munnakatemba w'omwaka Teacher Mpamire Yawangula

Amwambaza

kyusa

Ssegujja alina amwambaza ow'enjawulo okuva mu Democratic Republic of the Congo amupimaera n'amutungira eby'ambalo by'azannyiramu katemba.

Ebikwata ku Famire ye

kyusa

Herbert Ssegujja mufumbo eri omwagalwa we, Carol Barekye. Omukolo ogw'obuwangwa ogw'okumwajula mu bazadde b'amukyalawe gw'akolebwa mu Gwekkuminebiri 2016.[9]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. https://www.newtimes.co.rw/section/read/214015
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-07. Retrieved 2022-12-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.google.com/maps/dir/Nakasero,+Kampala/Zana,+Kampala/@0.2938935,32.5483218,13z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbb780367a4d3:0xba33d80d08dfacd8!2m2!1d32.5810108!2d0.3217848!1m5!1m1!1s0x177dbd430da4fe39:0x404ad8a03f26c32a!2m2!1d32.5570715!2d0.2624052!3e0
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-28. Retrieved 2022-12-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Nation_(Malawi)
  6. https://www.newvision.co.ug/news/1486956/teacher-mpamire-love-heartbreak
  7. http://matookerepublic.com/2017/01/02/comedian-teacher-mpamire-wins-africa-youth-award-to-be-honoured-by-presidents-at-au-summit/
  8. http://bigeye.ug/teacher-mpamire-wins-continental-award/
  9. https://www.newvision.co.ug/news/1441511/comedian-mendo-introduced-fiancee

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa