Omusujja gw’omu byenda
Omusujja gw’omu byenda guleetebwa obuwuka obuyitibwa 'Salmonella Typhi' nga bukwata mu byenda ne mu musaayi. Omusujja guno bwe gukukwata otandika okufuna (okulaba) obubonero bwagwo mu bbanga eriri wakati w'ennaku omukaaga n'asatu (6-30 days).
Obumu ku bubonero bw'omusujja gw’omu byenda
kyusaOmuntu bw’afuna omusujja guno nga gwa maanyi okumala ennaku eziwera, anafuwa omubiri, alumizibwa mu lubuto, akaluubirizibwa mu kufuluma era alumizibwa n’omutwe. Wabula, waliwo n’abafuna obutulututtu ku mubiri. Omusujja gw’omu byenda guva akwatira mu kulya era n'okunywa amazzi oba emmere ebiba birina akakwate ku bubi bw'oyo eyakwatibwa edda obulwadde buno. Omusujja guno gukwata bantu bokka, tegukwata kisolo kyonna.
Obubonero
kyusaObubonero obulala obw’omusujja gw’omu byenda bwe buno. Mu mbeera ng'omulwadde alina omusujja gw’omu byenda tajjanjabiddwa, obulwadde buno bulina emitendera ena, era nga buli mutendera gumala wiiki ng'emu era, gye gino wammanga:
- Mu wiiki esooka, ebbugumu ly'omulwadde litadika mpolampola okulinnya nga kw’otadde okuwuliramu engeri y'omusujja. Embeera eno ewerekerwa ebintu ng'okukendeera mu ntujja (enkuba) y'omutima, okulumizibwa kw'omubiri,omutwe oguluma ssaako n'ekifuba ekikololwa.
- Mu birala mulimu okwerumika n'okulumwa olubuto. Kyokka ssinga bakukebera mu kiseera kino ekya wiiki esooka bwe bakukebera tebasobola kugulaba.
- Mu wiiki ey'okubiri, omulwadde atandika okuba omunafu ddala era kimuwa obuzibu okuzuukuka,era olwadde afuna n'obutulututtu.
- Olubuto lwongera okugejja(okuzimba) wamu n'okukulumwa, era wano osobola okufuna n'ekiddukano. Akabonero ek'enkukunala ak'obulwadde buno kali nti omulwadde oyo abaafuna omusujja buli kawungeezi mu wiiki esooka n'eyookubiri.
- Mu wiiki eyookusatu, ebyenda bitandika okuvaamu olusaayisaayi.
Wiiki eyookusatu weggweerako ng'omusujja gutandise okukendeera.
Engeri y'okuziyizaamu omusujja gw’omu byenda
kyusaOkubeera abayonjo. Okusinga ennyo obulwadde buno bukwatira mu byakulya ne mu mazzi agalimu obubi bw’oyo eyakwatibwako obulwadde buno.
Enzijanjaba y’omusujja gw’omu byenda
kyusaOkujjanjaba endwadde eno, eddagala lino wammanga lye limu ku likozesebwa: Oral rehydration therapy, ekika kya Fluoroquinolone okuli eddagala nga eiprofloxacin n'ebika by'eddagala ebirala bingi. Ebiseera ebisinga endwadde y’omusujja gw’omu byenda bw'eba ejjanjabiddwa mu budde ewona bulungi.