Omutangenta (the tangent function)

Omuzimbi w'emiramwa gya sayansi Charles Muwanga agamba nti essomapuyisatu(trigonometry) era eriyitibwa essomampetosatu ssomo lya kibalangulo eryeyambisibwa okuzuula oluuyi oba eppeto eritamanyiddwa mu mpetosatu(triangles) era eziyitibwa mpuyisatu(trigony).Emikwataganyo egy'enjawulo egy'essomampetosatu girimu:

Tangent

(i) Omusiina= Omukwataganyo ogwa siina(the sine function)

(ii) Omukosiina = Omukwataganyo ogwa kosiina (the cosine function)

(iii) Omutangenta=Omukwataganyo ogwa tangenta (the tangent function)

Okutegeera emikwataganyo orina okuwa amannya buli ludda lwa mpetosatu ennesimbu(every side of a right angled triangle).Gano ge mannya g'empuyi za mpetosatu ennesimbu:

(a) Olukontano = Oluuyi olukontana ne seppeto (the side that is opposite to angle theta) . Luno era luyitibwa "lusimba" , ekitegeeza oluuyi olwesimbu(vertical side)

(b) Olukoono = Oluuyi olukoona ku seppeto (the side that is adjacent to angle theta). Luno era luyitibwa "lugalamiro" , ekitegeeza oluuyi olugalamivu.

(c)Oluwunziko oba olwewunziko = Oludda olwewunzifu(hypotenuse). Luno era luyitibwa lusittalo , ekitegeeza nti oluuyi olusittavu(slanty side).

Weetegereze:

(i) seppeto =angle theta . Lino ly'eppeto ery'ensonga


(ii)Buli mukwataganyo gulina amannya abiri, erinnya eryewole n'erinnya eriva mu kugattika ebigambo by'oluganda:


(a) Omusiina = Omukontano =Omukwataganyo ogukontana ne seppeto

(b)Omukosiina = Omukoono = Omukwataganyo ogukoona ku seppeto

(c) Omutangenta = Omusimbagalo = Omukwataganyo gw'Olusimba n'olugalamiro