Omuti gwa Nakayima
Omuti gwa Nakayima, ogumanyiddwa ng'Embuga ya Nakayima, muti ogw'ebyafaayo n'obuwangwa ogusangibwa mu Disitulikiti y'e Mubende mu Uganda.[1][2][3][4] Gumu ku miti egisinga obukadde mu Uganda nga nga guteeberezebwa okuba n'emyaka egisukka mu 350.[1][5][2]
We gusangibwa
kyusaOmuti Nakayima guli kirommita 4 okuva mu kibuga Mubende ku lusozi lwa Mubende oluli ffuuti 700 obuwanvu era oluyitibwa olusozi lw'e Boma ku luguudo oluva e Kampala okudda e Fort Portal[5] oluli mita 1480 waggulu w'ennyanja ne kirommita 172 mu bugwanjuba bw'ekibuga Kampala.[6][7] Okutuuka ku muti Nakayima, kitwala essaawa 3 n'eddakiika 15 okuva e Kampala okutuukayo.[1] Ekiggwa ky'omuti gwa Nakayima kisangibwa ku ttaka lya yiika 10.[6] Olusozi Mubende kwe kwabeeranga Nyakahuma (omukyala omukulu owa Ndahura).[6][2]
Ebyafaayo
kyusaOmuti Nakayima gwatuumibwa erinnya lya Nakayima eyali kabona omukazi owa Ndahura (Kabaka w'Abachwezi eyasembayo). Nakayima yali aweereza nnyo mukama we Ndahura n'abantu ab'omu kitundu ekyo wonna nga y'abalung'amya mu nzikiriza ey'ekinnansi.[1] Kigambibwa nti Nakayima teyafa, wabula yabulira mu muti guno nga kwe baava okugutuuma erinnya Nakayima.[1] Nakayima amanyiddwa nga katonda w'obugagga n'amaanyi.[1]
Abatuuze b'omu kitundu balina okukkiriza nti omuti gwa Nakayima guwa amaanyi, gugaba enzaalo, guwonya endwadde, n'okulagula abantu ababa bagenzeeyo.
Kigambibwa nti omuti gwa Nakayima gwakolanga ng'ekisenge ky'olubiri lwa Kabaka Ndahura.
Enkula yaagwo
kyusaErinnya ly'ekika ky'omuti gwa Nakayima limanyiddwa nga Mukoko (mu lulimi Orunyoro - Rutooro) nga mu lulimi lw'ekinnassaayansi guyitibwa sterculiaceae.
Omuti Nakayima gulina obuwanvu bwa mmita 40, ate wansi gutudde ku bugazi bwa ffuuti 20 ku ttaka, gulina emirandira egyasimba ne giranda ku buwanvu bwa mmita 50 okuva ku kikolo kyagwo,[6] era guliko obusenge 9 ku bbali n'ebbali obulowoozebwa nti mulimu amaanyi ag'okuwonya, okuwa abantu essanyu n'okubawa obulamu.[6]
Okumpi n'omuti guno, waliwo ebifo bina eby'ebyoto okukumibwa omuliro ogutazikira, okuli: Ddungu, Bamweyana, Kiwanuka ne Kalisa. Ddungu atwalibwa nga katonda w'abayizzi, Baweyena nga katonda ow'obugagga, Kiwanuka wa ntalo era omuduumizi w'amagye, ng'ate Kalisa ye katonda w'abalunzi b'ente.[6]
Omuti Nakayima gulimu ebisenge mwenda ebisangibwa mu mirandira egyakula ne giwola nga mulimu ebisenge bina ebya Kabaka Ndahura, bibiri ebya Jajja Musoke, bibiri ebya Kilunda, ekimu ekya Nnaalongo Mukasa n'ekimu ekya Nakayima. Ndahura ayogerwako ng'omusawo awonya Kawaali (small pox) era abalwadde ba Kawaali gye bagenda ne bamusaba n'abawonya.[1] Ebienge byonna biriko ebibumbe bya bakatonda bye baabibbulamu.[1]
Amateeka abagendayo ge balina okugondera
kyusaAbakazi balina okwambala engoye empanvu nga zibabunye, ate nga si mpale. era tebakkirizibwa kukyalira muti guno nga bali 'mu nsonga'.
Amatabi g'omuti tegateekeddwa kutemebwa, n'ago agagwa tegateekeddwa kukozesebwa mu ngeri yonna gamba ng'okufumba naye galekebwa awo okutuusa lwe gavunda gokka.
Ebyokulya byokka ebikkirizibwa okuleetebwa balubaale bye birina okuleetebwa oyo egendayo era bikkirizibwa kufumbibwa mu ffumbiro lya Nabuzaana lyokka ate bwe biggya olina okubigabirako ne banno abalala b'oba osanzeeyo.
Abagenzeeyo tebalina kukuba muti guno mugongo, nga balina kuddayo nga batambula kyennyumannyuma nga baddayo okutuusa lwe batuuka ku wankaaki w'ekifo kino.
Abagenzeeyo tebalina kusiibula bakatonda baayo oluvannyuma lw'okusaba naye balina kuvaayo ngabatambula mpolampola.
Okulambula n'enzikiriza z'obuwangwa
kyusaOmuti Nakayima gusikiriza abalambuzi n'abakkiriza okuva mu Uganda n'ensi yonna abakkirizibwa okuyingira mu kifo ekyo ekiseera kyonna kye baagala awatali kukugirwa budde bwe bamala munda. Abagenyi/abalambuzi basasula 5,000 UGX (2023) oba okusingawo ezikozesebwa okulabirira n'okuddaabiriza ekifo ekyetoolodde omuti Nakayima.[1]
Abantu bagenda ku muti okusaba, okuyimba era n'okuwa n'okwokya ebiweebwayo byabwe eri bakatonda baabwe abasobola okweyoleka mu ngeri yonna omuli ey'embwa oba kkapa. Ebiweebwayo biyinza okuba mu ngeri ya ssente, ebisolo, emmere ey'ensigo, emmere ey'epeke, ebiva mu nsolo gamba ng'amata, omuzigo,emmwanyi, n'ebintu ebirala era biteekebwa wansi w'omuti guno. Waliwo ebiweebwayo ebirala nga: obulo, entungo n'omuwemba nga byonna bibuna omuti Nakayima. Ebiweebwayo nga ssente biteekebwa mu bibbo ebiyitibwa Ebigali. Omuti gwa Nakayima tekola eri abo abaagala okukola ebikolwa eby'ekizikiza gamba ng'abo abaagala okutta balabe baabwe n'ebikolwa ebirala ebya setaani.
Abakkiriza abamu bagamba nti Nakayima alabika gye bali mu birooto ng'abalagirira ku ky'okukola okusobola okuddibwamu okusaba kwabwe mu bbanga lya nnaku ssatu n'omwezi gumu.
Era okusaba kw'omuntu bwe kuddibwamu bakatonda be yasaba, bamusuubira okudda n'ekiweebwayo okwebaza era n'okugabana ebimu ku ssaddaaka n'abantu abalala ku b'asangayo ku mbuga ya Nakayima.
Ebisenge omwenda ku muti Nakayima;
- Esenge ekisooka kikola ekifo eky'okwaniririzaamu abagenyi, ekirabo ky'emmere n'ekisulo.
- Ekisenge ekyokubiri kya Kabaka Ndahura.[6]
- Ekisenge ekyokusatu kya Nabuzaana (katonda omukazi ow'obufumbo n'okuzaala).[6]
- Ekisenge ekyokuna kirina abagenyi we bagenda ne basaba naddala abo abaagala okuzaala abalongo.[6]
- Ekisenge ekyokutaano kya Musoke (katonda w'enkuba).[6]
- Ekisenge eky'omukaaga kya Kiwanuka (katonda w'olutalo n'omuduumizi w'amagye).[6]
- Ekisenge eky'omusanvu kya Kalisa (Katonda w'abalunzi b'ente). Kalisa ye yajjanjabanga ente za Nakayima.[6]
- Ekisenge eky'omunaana kya Ddungu (katonda w'okuyigga).[6]
- Ekisenge eky'omwenda kya Mukasa (katonda w'amazzi n'okuvuba).[6]
Laba na bino
kyusaAkabenje akaagwawo mu 2024
Embuga ya Nakayima yagwamu nnabe mu Gwekkumineebiri 2024, ettabi ekkalu bwe lyakutuka ne ligwira abalamazi abaali beetegekera omukolo omunene ogubeerayo mu mwezi ogwo buli mwaka[8]. Abantu bana be baafiirawo ate abalala musanvu ne batwalibwa mu ddwaliro lya Mubende Regional Referral Hospital nga bapookya n'ebisago eby'amaanyi.[9]
- Mubende
- Disitulikiti ya Mubende
Ebiwandiiko ebijuliziddwamu
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 1.7 1.8 https://web.archive.org/web/20240222173920/https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/travel/nakayima-mythical-tree-that-bears-good-tidings-4234504
- ↑ 2.0 2.1 2.2 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/travel/nakayima-mythical-tree-that-bears-good-tidings-4234504
- ↑ https://mubendemc.go.ug/nakayima-tree
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1458842/joy-kabaka-lightens-buweekula
- ↑ 5.0 5.1 https://www.gorillasafariexperts.com/nakayima-tree-in-mubende/
- ↑ 6.00 6.01 6.02 6.03 6.04 6.05 6.06 6.07 6.08 6.09 6.10 6.11 6.12 6.13 https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/survival-of-nakiyima-ekyabagabe-tree-shrines-1880436
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1329446/hammerkop
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=QjA1C-eQGgg
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=HCv89WqxAug