Omuzikiti gwa Uganda National Mosque

Omuzikiti gwa Uganda National Mosque gusangibwa ku kasozi Kampala mu kitundu kya Kampalamukadde (Old Kampala) mu Kampala, Uganda. Gwe muzikiti ogusinga obunene mu mawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika.[1] Okunoonyereza okwakolebwa mu 2014, kwalaga nti Abasiraamu mu Uganda batwala ebitundu 14% ku bungi bwa Bannayuganda.[2] Ggwaggwa okuzimbibwa mu 2006, nga gutuuza abantu abatuuka mu 15,000 ne gwongerako abalala 1,100 mu kabanyi, Ate ku madaala kusobola okutuulako abantu abali eyo mu 3,500. Colonel Muammar Gaddafi eyali Pulezidenti wa Libya ye yazimba omuzikiti guno ng'aguwaayo ng'ekirabo eri Uganda, era ng'ekirabo eri Abasiraamu bonna mu Uganda. Uganda erina emizikiti mingi naye guno gwe gusinga obunene n'obuwanvu mu gyonna.[3]

colspan="2" class="infobox-above" style="background-color:
  1. 9BE89B" |Omuzikiti gwa Uganda National Mosque
مسجد أوغندا الوطني
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
  1. 9BE89B" |Eddiini
Enzikiriza Busiraamu
Ettabi ly'Obusiraamu Sunni Islam
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
  1. 9BE89B" |Gye gusangibwa
Gye gusangibwa Kampala, Uganda
Uganda National Mosque is located in Kampala
Uganda National Mosque
Gusangibwa mu Kampala
Gutwalibwa Olukiiko lw'Obusiraamu olukulu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council
Geographic coordinates 0°18′56″N 32°34′07″E / 0.315539°N 32.568591°E / 0.315539; 32.568591nnamba zaagwo: 0°18′56″N 32°34′07″E / 0.315539°N 32.568591°E / 0.315539; 32.568591
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
  1. 9BE89B" |Enzimba
Ekika ky'enzimba Muzikiti
Omwaka mwe gwazimbibwa 2006
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
  1. 9BE89B" |Ebigukwatako
Obunene bwagwo Gutuuza abantu 12,200
Ekifo kwe gutudde Yiika 12(4.9 ha)
Qubbat(Kuba) 5
Omunaala 1
Obuwanvu bw'omunaala Mmita 50.5 (ze ffuuti 166)
Ebyakozesebwa okuguzimba Enkokoto eŋŋumu ennyo

Ebyafaayo byagwo kyusa

Okuzimba omuzikiti guno kwatandika mu 1972 era mu kusooka gwayitibwanga Old Kampala National Mosque. Okuguzimba kwayimirira mu 1976 ne kuddamu mu 2001.[1]

Okuguggulawo mu butongole kwaliwo mu Gwomukaaga 2007 ne gutuumibwa Gaddafi National Mosque, era gwe guliko ofiisi enkulu ey'Olukiiko olukulu olutwala Obusiraamu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council.[4] Kyokka gwaddamu okutuumibwa "Uganda National Mosque" mu 2013 oluvannyumalw'okufa kwa Colonel Gaddafi kubanga Gavumenti ya Libya empya yali si nneetegefu kuguddaabirizanga ssinga gwali gwa kusigala mu linnya lya Gaddafi."[5]

Omunaala gw'omuzikiti guno guliko amadaala 304 g'olinnya okutuuka waggulu.[6]

Ebifaananyi by'omuzikiti guno kyusa

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

Ebijuliziddwa okuva ebweru wa Wikipediya kyusa