Gladys Oyenbot Munnayuganda, muzannyi w'amizannyo, muyimbi ate pulodyusa omutendeke ng'amanyiikiddwa n'elinnya elisooka nga Oyenbot. Amanyikiddwa lw'okuzannya nga Dorotia mu filimu ya Mpeke Town (2018), era nga Beatrice mu kazannyo akawangula awaadi aka Yat Madit Yat Madit (2016). Mu 2020 yazanya mu firimu eziwerako nga The Girl in the Yellow Jumper, mu firimu y'amateeka eya Kafa Coh, Family Tree, ne Down Hill.[1] Era yalina ebifo by'eyazanyiramu mu firimu y'omukwano eya Love Makanika (2015) nga yawandiikibwa Dilman Dila, Reflections (2018) nga yawandiikibwa Nana Kagga ne 5 @Home(2017) eyalgirwa ku Fox Life Africa. Emirimu gye emirala gyeyakola mulimu Haunted Soul (2013), Day 256(2017), Communion(2018), King of Darkness (2015), ne Kyenvu (2018) firimu enyimpi eyawangula awaadi eziwerako nga yafulumizibwa wamu ne Hedwyn Kyambadde.[2]

Emirimu gye

kyusa

Mu 2016 Oyenbot yazannya nga Beatrice, maama era omukyala eyatulugunyizibwa mu kazannyo k'obutundu aka Yat Madit akalagibwa ku NTV Uganda.[3]

Era yazannya nga Amanda, omukyala atakkiririza olw'obaganzi be ab'edda nga yayagalana n'omusajja omufumbo, era omwana we atannazalibwa nga kano kagenda kulagibwa ku Nana Kagga akatuumibwa Reflections.

Oyenbot yazanya mu firimu Mira Nair Walt Disney movie Queen of Katwe ng'omutunzi w'edduuka. Yazannya nga atulidde mu kifo kya Lupita Nyong'os mu firimu.[4][5]

Oyenbot yetabye mu firimu eziwerako. Amanyikiddwa olw'ebyo byeyakola mu muzannyo gwa Matei Vișniec, "The Body of a Woman as a Battlefield in the Bosnian War"; omuzannyo ogw'adayilekitingibwa Aida Mbowa -nga gwali gulaga okulwanyisa okutabangulwa mu bwongo;[6] n'omuzannyo ogumanyikiddwa oguytibwa Heaven's Gates, Hell's Flames, Restore Tour: Child Soldier No More, and the KAD’s adaption of William Shakespeare's Much Ado About Nothing,[7] the tragedy of Macbeth ne Charles Dickens Oliver Twist. Era yazannya mu Silent Voices: omuzannyo ogulaga eby'ava mu lutalo lw'Obukiikakkono bwa Uganda.

Oyenbot alina Diguli mu kuzannya katemba okuva ku Ssettendekero wa Makerere. Era y'azannya ne mu mizannyo gya telefayina ne lediyo nga "Rock point 256" ne "Mako-Mere".[8]

Yali mu Watoto Children's Choir nga yali kalabalaaba w'abaana saako n'okuzannya n'abo nga bali mu kulambula.

Filimu ze y'azannya

kyusa

Ng'omuzaanyi

kyusa

Filimu ne telefayina

kyusa
Omwaka Elinnya Kye y'azannya Dayilekita Kampuni eyagifulumya Eby'awandiikibwa
2022 Boy No Fear Omusamize Jonathan Curtis
I Eat What I Like Hellen Shari
KeyCard Shamila Douglas Dubois Sebamala Sebamala Arts
Vanilla Miriam
2021 Black Glove Shamila Angella Emurwon Sebamala Arts Yawandiikibwa era n'efulumizibwa Douglas Dubois Sebamala
2020 The Girl in the Yellow Jumper Vicky Loukman Ali Produced at Loukout Films by Morocco Omari, Ntare Mwine, Suubi Elvis Yasaasanyizibwa aba Netflix
2019 The Reporter Nekesa Sharpe Sewali Filimu y'obutundu eragibwa ku Tv
Family Tree Theresa Nicole Nabugabo Filimu ennyimpi
2018 Reflections Amanda Nana Kagga Savana Moon production Obuzannyo obulagibwa ku TV
Kaffa-coh Kisaka Gilbert Lukalia Amani House production Feature Film
Mpeke Town Dorotia Shani Grewal Mediae Production Obuzannyo obulagibwa ku TV
2017 256 Midwife Stella Namatovu Boda Boda production Filimu ennyimpi
Communion Gashanga Patience Nitumwesiga Shagikatales Filimu ennyimpi
2016 Yat Madit Beatrice Irene Kulabako Trivision Yawangula awaadi ssatu
Queen of Katwe Shopkeeper/Stand in double Mira Nair Walt Disney Studios Feature Film
The Bag Mukyala Mulokole Douglas Kasule Benda Filimu ennyimpi ey'addamu okufulumizibwa
2015 5 @Home co-star Llyod Lutara Fast Track production ku Fox Life Africa
2013 Haunted Souls Aciru Godwin Otwoma Artling Production Filimu ennyimpi

Theatre

kyusa
Omwaka Elinnya Ekifo ky'eyazannya Dayilekita
2017 Hustle Box Muyizi Rehema Nanfuka
2016 Ga-ad Toto, omukyala omukadde, muyimbi Adong L Judith
Heaven's Gates, Hell's Flames Omuwala ey'ayononeka Sheila K Tugume
2015 The Body of a Woman as a Battlefield in the Bosnian War Dora n'abalala Benoit Vitae and Bogdan Palie
2014 Desperate to Fight[9] Marta Aida Mbowa
Much Ado About Nothing Hero Peter Wiedmann and Nathalie
2013 Macbeth Omulogo Tom Adlam and Angela Emuron
Beautiful Africa As self, omuyimbi MercyRose Ssendegeya
2012 Silent Voices Margret Denis Hilton
Oliver Twist Charlotte, maama wa Oliver Trudy Mcgilvry
Heaven's Gates, Hell's Flames Omwana ey'ayononeka Sheila K Tugume
2010 Restore Tour Maama, omwana eyawambibwa Dawn Stride

Obuzannyo bw'okuladiyo

kyusa
Omwaka Elinnya Ky'eyazannya Dayilekita Kkampuni Ebyawandiikibwa
2010 Mako-Mere Catherine Achieng Achiro P Olwoch Attiku Films Amaloboozi agakozesebwa mu buzannyo bwa lediiyo
2006 Rock Point 256 Rebecca Asiimwe Deborah Straight Talk Amaloboozi agakozesebwa mu buzannyo bwa lediiyo

Nga Pulodyusa

kyusa
Omwaka Omukolo Dayilekita Eby'awandiikibwa
2018 Kyenvu Kemiyondo Coutinho Filimu ennyimpi
2017 Ebikujjuko by'ennyimba ebitaba ensi yonna ebya Nyege Nyege Poppy Spowage Ebikujjuko by'ennyimba

Awaadi n'empaka ze y'etabamu

kyusa
Omwaka Awaadi Ettuluba Emirimu Eby'avaamu
2022 Biff International Film Ffestival Omuzannyi asinga Vanilla
Crown International Film Ffestival Omuzannyi asinga Vanilla
SOFIE Awards Omuzannyi asinga mu kuyamba abazannyi abalala KeyCard

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-04-11. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2020-10-18. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20170825150322/http://chimpreports.com/entertainment/photos-glamour-as-yat-madit-tv-drama-series-premieres/
  4. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Oyenbot-played-Lupita-s-double/689842-3944772-cvo57hz/index.html
  5. http://allafrica.com/stories/201705290621.html
  6. https://bakwamagazine.com/2014/12/07/private-desire-in-the-public-domain-at-the-kampala-international-theatre-festival/
  7. https://tsupug.blogspot.ug/2014/10/shakespeares-epic-comedy-to-grace.html?m=0
  8. https://kampalainternationaltheatrefestival.com/gladys-oyenbot/
  9. http://www.ubumuntuartsfestival.com/Festivals/Ubumuntu-2015/2015-s-Performances/Desperate-to-Fight-Ethiopia-Uganda

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa