Patricia Ojangole BCom, MBA, MPhil, PhD, FACCA, Munnayuganda, mubazi w'abitabo era mukulu wa Bbanka. Y'akulira Bbanka ya Uganda Development Bank Limited (UDBL), Ekitongole kya Uganda kyokka ekiwola ensimbi.[1]

Emisomo gye kyusa

Alina Diguli mu By'obusuubuzi gye yaggya ku Makerere Yunivasite, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Diguli ye endala eya Master of Business Administration yagifunira ku Eastern and Southern African Management Institute mu Arusha, Tanzania. Mmemba mu kibiina ky'ababazi b'ebitabo ekya Fellow of the Association of Chartered Certified Accountants ekya Bungereza. Era mmemba mu kibiina ky'ababzi b'ebitabo mu Uganda ekya Institute of Certified Public Accountants of Uganda ne Institute of Internal Auditors.[2] Mu Gwokutaano 2020, Patricia yafuna Diguli mu by'ensimbi eya Doctorate degree in finance. Okunoonyereza kwe kw'ali kutunulidde "enkulakulana y'ebitongole by'ensimbi, n'ebyensimbi ebitebenkedde".[3]

Emirimu gye kyusa

Nga tannaba kwegatta ku UDBL mu 2012, Patricia Ojangole yali akoze emyaka 13 mu mawanga ag'enjawulo nga Kenya, Tanzania, Uganda, Namibia, Swaziland, Lesotho ne Botswana. Emirimu gye gy'ali gikwasaganya ebisaawe by'ensimbi ebiwera omuli amabanja, okukwasaganya obusambatuko, n'ebyensimbi. Yegatta ku Uganda Development Bank Limited ng'akulira ababalirizi b'ebitabo ab'omunda.

Obukuubagano kyusa

Nga 30 Ogwekkuminogumu 2012, Ojangole yalondebwa ng'omukulu wa UDB. Nga 10 Ogwokubiri 2014 Omulamuzi wa Kkooti ekwasaganya obulyake yafulumya ekiragiro ky'okukwata Patricia Ojangole emirundi ebiri:[4] (1) Oluvanyuma lw'okola ng'okwagala kwe bwekuli ng'asulirira emirimu gy'obwa CEO (2) Okutyoboola bannamawulire. Okumala emyezi egiwerako, omusango gw'amalirizibwa bannamateeka ba Uganda.[5]

Okwegyerezebwa kyusa

Nga 30 Ogwomukaaga 2014, Omulamuzi Lawrence Gidudu owa Kkooti ekwasaganya obulyake era yejjereza Ojangole olw'okubulwa obujulizi. Omulamuzi yagamba "obujulizi obwaleetebwa abawaabi bwali bujuna Ms. Ojangole n'olwekyo teyalina kyakukola okugyako okumwegyereza".[6] Akyaweereza nga CEO wa UDB.[7]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwamu kyusa

  1. https://www.theeastafrican.co.ke/news/Uganda-Development-Bank-a-catalyst-for-growth/2558-2668570-item-0-wu6096z/index.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-01-19. Retrieved 2024-04-17.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://www.financialnigeria.com/patricia-ojangole-african-star-development-banker-interview-126.html
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1337503/court-issues-warrant-arrest-udb-ceo
  5. http://www.monitor.co.ug/News/National/I-am-being-persecuted--UDB-boss-tells-court/688334-2321376-10ii061/index.html
  6. http://www.monitor.co.ug/News/National/UDB-s-Ojangole-acquitted/688334-2366956-4s1jqy/index.html
  7. http://allafrica.com/stories/201604111237.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya kyusa