Patrick Ssenjovu
Color headshot of Ssenjovu in 2008.
Ssenjovu mu 2008.
Yazaalibwa
Eggwanga Ugandan
Omulimu Muzannyi wa filimu, Dayilekita wa filimu era mutunzi wa filimu

Patrick Ssenjovu muzannyi. wa filimu n'emizannyo gya fiyeta. Era ayongerako eky'oku Dayilekitinga filimu n'okuzifulumya

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Yazaalibwa mu Kayunga, Uganda.  

Ebikwata ku mirimu gye

kyusa

Emirimu gya fiyeta

kyusa

Ku myaka kkuminena Ssenjovu yafuuka omuzaanyi asinga obuto mu kibiina ky'abazinnyi ekya fiyeta ky'ebayita Impact International, abaali bazannyira mu mawanga g'ebulaaya ne mu United States, omuli Woza Albert!, omuzannyo ogwazannyibwa okuva mu katabo k'ebyobufuzi.

Oluvannyuma yagenda mu kibuga ky'e New York, New York, ng'eyo gye yafuukira memba mu kampuni ya Great Jones Repertory Company era nga yakola n'abantu ngaMeredith Monk, Ellen Stewart, Ping Chong ne Seth Barish. Ssenjovu azannye ku mikolo egy'enjawulo nga La MaMa Experimental Theatre Club, Lincoln Center, Ohio Theatre ne St. Anne's Warehouse, nga by'onna bisangibwa mu New York City; era ne New Jersey Performing Arts Center, esangibwa mu Newark, New Jersey.

Mu 2000, y'alabikira mu Secret History, omuzannyo ogw'awandiikibwa Chong, ku Ohio Theatre.[1]

Ebikwata ku Filimu n'okuzannya mu mizannyo gya vidiyo

kyusa

Ssenjovu yalabibwa nga Ibrahim Moshoeshoe mu muzannyo gwa Game 6 (2005), sport, omuzannyo gw'akatemba nga dayilekita yali Michael Hoffman; ne mu muzannyo gwa Sydney Pollack ogwa The Interpreter (2005), Omuzannyo ogwali gw'tobeseemu ebyewuunyisa ebinyuvu, nga dayilekita yali Sydney Pollack.[2]

Okugatta kw'ebyo, y'azannyisa eddoboozi lye "Other Characters" mu X-Men Origins: Wolverine (2009), omuzanyo ogujjudde ekyukakyuka mu tekinologiya, fantasy-action video game.[2]

Emirimu gy'eyakola nga Dayilekita n'e filimu ze y'afulumya

kyusa

Ssenjovuy'adayilekitinga era n'afulumya filimu ya Awaken (2009), filimu ennyimpi.[2]

Eby'okumanya

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa
  • Patrick Ssenjovu at IMDb
  •   Official website 
  • "Woza Albert!", a performance flyer at La MaMa Experimental Theatre Club's official website. Accessed August 24, 2010.