Peninah Kabenge
Peninah Aligawesa Kabenge (yazaalibwa 30 Ogwekkuminogumu, 1964) munayuganda omulwanirizi w'eby'emizannyo. Y'akulira ebyemizannyo n'okwewumuzaamu mu Makerere University, omukyala eyasooka okumyuuka Pulezidenti w'ekibiina ekya International University Sports Federation, era okuva mu 2021 aweereza ekisanja eky'okutaano nga Pulezidenti wa Association of Uganda University Sports.
Obulamu bwe obwasooka
kyusaYazaalibwa 30 Ogwekumunogumu, 1964 mu disitulikiti y'e Luwero, Uganda, Kabenge y'omu kubaana ekkuminoomu. Bazadde be bombi baali basomesa, era abatendereza olw'obusobozi bwabwe obw'okusomesa.[1] Yagenda mu Bugema Adventist College ku mutendera gwe ogwa O Level, era oluvannyuma yagenda mu Namasagali College ku daala erya waggulu. Yafuna diguli esooka n'ey'okubiri okuva mu Makerere University.
Emirimu
kyusaEmizannyo
kyusaMu 1988, Kabenge yafuna omulimu gwe ogwasooka mu Makerere University era mu 1990 nyakolako ng'omuyambi w'omusomesa ow'eby'emizannyo. Mu 1992-2002, bwe yali akola ng'omusomesa mu kitongole ky'eby'enjigiriza bya ssaayansi n'eby'obuyiiya, oyoluvannyuma yakuzibwa n'aweebwa ekifo ky'omusomesa w'eby'emizannyo mu Makerere University. Wakati wa 2001 ne 2007, Kabenge yafuuka omusomesa w'eby'emizannyo mu yunivasite era mu kiseera kino y'akullira eby'emizannyo n'eby'okwesanyusaamu.
Mu Ogwekkuminogumu 2019, Kabenge yalondebwa ng'omumyuka w'omukulembeze w'ekibiina kya International University Sports Federation (FISU), nga yalondebwa ku kisanja kya myaaka ena okuva mu 2019-2023. Mu mwaka ogwa 2021 yali aweereza ekisanja kye eky'okutaano ng'omukulembeze w'ekibiina ekya Uganda University Sports Association (AUUS), ekifo ky'abadde nakyo okuva mu mwaka gwa 2004.[2]
Alina n'eduuka eritunda ebintu eby'emizannyo n'engoye.
Obulimi
kyusaKabenge alina ettaka mu disitulikiti y'e Luwero omuli emicungwa n'emiyembe by'alima. Alinako n'embuzi.
Awaadi
kyusaMu 2012 yaweebwa ekirabo kya IOC Women and Sport Award for Africa mu 5th World Conference of Women and Sport. Mu 2020 yaweebwa ekirabo eky'oluberera okuva ekitongole ekya Federation of Uganda Basketball Associaations in Uganda ng'asiimibwa olw'omulimu omunene gw'akola mu Basketball.
Obulamu bwe
kyusaKabenga yayawukana ne bba, alina abaana babiri.