Penny Tinditina, era amayikiddwa nga Penny Jakana (yafa mu Gwokuna 19, 2017),[1] yali omusomi w'amawulire ku Uganda Television, omusomi w'amawulire n'omuweereza ku Radio 1[2] ne munamawulire ku BBC mu ntandikwa ye mwaka gya 2000.[3][4][5] Yafiira ku myaaka 39.[6]

Ebimukwaatako kyusa

Mu 2016, Penny yazuulibwamu kookolo w'omu mawugwe[6] nafa mu mwaka gwa 2017 mu Seattle, United States eyo gye yali alwaniridde obulamu bwe okusobya omwaaka mulamba. Omwoyo gwe gwasabirwa mu Church ya Watoto mu Kampala.[4] Yajukirwaako ekubeera n'ekisa, empisa n'obumalirivu Bwe yafa, ekibiina kya memorial fund ky'atandikibwaawo mikwano gye ku GoFundMe okuyamba mu kuziika kwe mu Uganda.[3][5] Yaziikibwa mu maka g'omukyaalo kye mu Nyakiganda mu Nyabuhikye, Disitulikitti y'e Ibanda.[4][6] Olumbe lwe lwali mu makaa g'abazadde be muBuwaate-Najeela.[6] Baawe yamwogerako nga "omukyaala alina okwagaala n'obuvumu eyali alina obudde bwa famire atte era eyamuzimba".[4]

Emirimu kyusa

Yakolera ku Bill and Melinda Gates Foundation mu Washington State, US mu bisseera by'okufaakwe era yali munnamawulire ku BBC.[3] Era yakolera ku Terefayina ya Uganda, kati emanyikiddwa nga UBC.

Obulamu bwe kyusa

Penny yalina abaana bassattu; Darren, Dione, ne Divine, n'omwaami we Alex Jakana.[3][1]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-22. Retrieved 2024-04-16.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.watchdoguganda.com/tag/penny-tinditina
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 https://www.monitor.co.ug/News/National/-Penny-Tinditina-succumbs-to-lung-cancer/688334-3896942-10of22g/index.html
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 https://www.newvision.co.ug/news/1452414/jakana-pays-tribute-loving-wife-tinditina
  5. 5.0 5.1 https://www.matookerepublic.com/2017/04/20/former-radio-one-and-ubc-news-anchor-tinditina-penny-succumbs-to-cancer/
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 https://www.newvision.co.ug/news/1452196/utv-anchor-burial-arrangements

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya kyusa