Peter Elwelu Lieutenant General mu ggye lya Uganda erimanyiddwa nga Uganda People's Defence Force (UPDF).[1] Ekiseera kino y'amyuka ssaabaduumizi wa UPDF. Yalondebwa ku kifo kino nga 24 Ogwomukaaga 2021. Okuva nga 9 Gatonnya 2017, Yaweereza ng'omuduumizi w'eggye ly'oku ttaka, ekifo ek'okuna okuva waggulu mu nsengeka y'amagye ga UPDF.[2] Okuva kw'olwo, okuva mu Gwomukaaga 2013 okutuuka mu Gatonnya 2017, ye yali omuduumizi w'ekibinja ekyokuna ekya UPDF, ekisangibwa e Mbarara, ekibuga kya Uganda ekisinga obunene mu kitundu ky'obugwanjuba bwa Uganda.[3] Elwelu asinga kumanyika olw'ekittabantu e Kasese ng'abalwanirira eddembe ly'obuntu bagamba abantu 153 baakifiiramu, omwali n'abaana, "Baali bagwana okufu" bwe yagamba Observer mu Gwokutaano gwa 2021.[4]

Elwelu Peter

Mirimu gye egy'amagye

kyusa

Agambibwa okuyingira amagye mu 1987. Yasooka kutendekebwa ku Tanzania Military Academy mu Monduli. Oluvannyuma lw'ekyo, yasindikibwa e Kabamba. Mu1995, yatwalibwa mu Gaddafi military barracks e Jinja, nga Cadet Officer.

Yali muduumizi wa UPDF we yazindira Zaire okuggyako Mobutu Sese Seko, ng'ayambibwako amagye ga Rwandan . Yakomawo mu Uganda mu 1999 n'atwalibwa mu kitundu kyobukiikakkono okulwanyisa Joseph Kony n'eggye lye erya Lord's Resistance Army. Mu kulwana okwo, yasimattuka okukubibwa essasi mu mugongo.[5]

Uganda bwe yasindika amagye gaayo agaasooka e Somalia mu 2007 wansi w'omukago gwa African Union Mission to Somalia, Elwelu yaduumira eggye eryasooka. Yasiimibwa omuduumizi w'eggye, General Katumba Wamala, olw'omulimu gwe.[6]

Mu Gwomukaaga 2013, yalondebwa okuduumira ekibinja ekyokubiri ekya UPDF ekisangibwa Mbarara. Nga tannakola ekyo, yaweerezaako ng'omuduumizi w'ekibinja ekyokusatu ekya 3, ekisangibwa e Moroto.[7]

Mu Museenene 2016, mu kitiibwa kye ekyomuduumizi w'ekibinja ekyokubiri, Elwelu yaduumira amagye ga UPDF agaalumba olubiri lwa Charles Mumbere Kasese, omukulembeze ow'ensikirano owa Rwenzururu. Waakiri abantu 153 okuli n'abaana baafiira mu bulumbaganyi.[8]

Mmmeja Ggeno Elwelu, mu kifo kye ng'omuduumizi wa UPDF ow'oku ttaka, yakyalirako amagye ga Uganda e Somalia omulundi gwe ogwasooka wansi w'omukago gwa AMISOM ku Lwokusatu 22 Ogwokusatu 2017. Okusinziira ku mwogezi w'ekibinja kya Uganda mu Somalia, okukyala kwa geno kwali kwa kukebera ku ntambula y'emirimu, okuzzaamu abalwanyi endasi, n'okubuulira abagyasi ku mbeera eri mu Uganda.[9]

Mu Gwokubiri 2019, abasajja n'abakazi abasukka 2,000 baafuna okukuzibwa mu UPDFPeter Elwelu yali omu ku baakuzibwa okuva ku ddaala lya Major General okutuuka to that of Lieutenant General.[10]

Laba ne

kyusa
  • Olukalala lw'amasomero g'amagye mu Uganda

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/gen-wilson-mbadi-appointed-new-cdf-3448756
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-27. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1326763/elwelu-appointed-2nd-division-updf-commander
  4. https://observer.ug/news/headlines/69795-they-deserved-to-die-gen-elwelu-on-killing-150-people-in-kasese
  5. https://www.thecitizen.co.tz/News/Brig-Elwelu--the-commander-who-blew-up-king-Mumbere-palace/1840360-34629076-do91gq/index.html
  6. https://www.thecitizen.co.tz/News/Brig-Elwelu--the-commander-who-blew-up-king-Mumbere-palace/1840360-34629076-do91gq/index.html
  7. https://www.thecitizen.co.tz/News/Brig-Elwelu--the-commander-who-blew-up-king-Mumbere-palace/1840360-34629076-do91gq/index.html
  8. https://www.hrw.org/news/2019/11/27/legacy-ugandas-kasese-massacre
  9. http://intelligencebriefs.com/maj-gen-peter-elwelu-elwelu-visits-updf-troops-in-somalia/
  10. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-promotes-Muhoozi-Kainerugaba-Lieutenant-General/688334-4972994-mqpx8tz/index.html