Odeke Peter Paul (yazaalibwa 21 Ogwekkuminogumu 1970) Munnayuganda,muzannyi wa filimu, era muzannyi w'emizannyo gya fiyeta, muweereza w'oku ladiyo era mukozi w'amaloboozi g'omubulango. Si mupya mu kisaawe ky'okuzannya olw'esonga nti yali yatandiika okuzannya emizannyo gy'okusiteegi ng'akyali mu Pulayimale ne Sekendule; Wabula okuzannya kwe okwasooka ku National Theatre kwaliwo mu myaka gya 1990 mu “SPECTRUM”, ekibiina kibiibya n'okuzannya emizannyo nga badda mu bigere by'ekibiina ekyalina likodi embi ekya Namasagali College.

Obuto bwe n'emisomo gye

kyusa

Peter yazaalibwa mu Kampala, Uganda naye nga

'asibuka mu ggwana ly'abateeso , era nga w'akuna mu baana mukaaga nga famire ye ebeera mu Uganda. Peter yetabama mu nteeketeeka z'essomero ez'enjawulo ku Kitante Primary School era yalimunyiikivu mu by'emisinde n'okuzannya emizannyo. Kino yeyongerayo nakyo mu myaka gyeyamala mu siniya ku St. Mary’s College Kisubi, nga yamanyika nnyo olw'amazina ge og'okumenyeka (Breakdancing). Ng'ali ku Kigezi High School, Peter yazannya mu kazannyo k'akatemba ng'omusomi w'amawulire. Teyamanya nti yali w'akufuuka mwatiikirivu nnyo mu ku soma amawulire (Prime-Time News Anchor).

Oluvanyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya BA (Political Science), Peter yasaba okukola ne TV eyasooka mu Uganda ey'obwannanyini, Sanyu TV, era nga yakkirirzibwa era ng'akola ng'omusasi w'amawulire.

Yasigaza omulimu gwe ogw'okusoma amawulire ng'omulimu gwe ogw'ebbali oluvannyuma lw'okwegatta ku South African Alliance Air ng'alabirira saako n'okubudabuda abasaabaze b'okunnyonyi, nga yalinnya n'afuuka akwasagaya eby'ensimbi mu myaka 3. SA Alliance Air’s operations yagyibwawo mu 2000.

Emirimu gye yakola

kyusa

Ku Sitegi

kyusa

Okulabibwa kwa Peter okwasooka mu National Theatre kwaliwo mu myaka gya 1990 n'ekibiina ky'abazinyi n'okuzannya emizannyo ekya SPECTRUM”. Yazannya nga Teezi mu muzannyo gw'ekibiina ogwakwatayo nga gwatuumibwa “Unleashed Fury,” nga tannadayo ku misomo gye egya Yunivasite.

Telefayina

kyusa

Peter yakola omizannyo gwe ogwasooka ku TV mu 2002 ogwayagalwa ennyo ogwa “Centre 4,” nga gwalina obutundu kkuminabusatu (13) nga yazannya ng'atambulirako omuzannyo Moses Wema– omukugu mu labalatore obw'ebyewuunyo ey'egombwa buli omu.

Emizannyo gy'okuladiyo

kyusa

Azannye ne mu mizannyo gya ladiiyo ebiri egy'oku BBC African radio nga: Kitu Kidogo (ogwa Kenneth Atwiine) & Damn Seconds (ogwa Pamela Otali).

Mu kisaawe kya Filimu

kyusa

Mu 2004, Peter yazannya omulundi ogwasooka mu filimu ya Raoul Peck's HBO eyatuumibwa, Sometimes in April, nga yazannya ne Idris Elba.

Okudda mu Kampala, Peter yakwatagana ne Denis Obua mu muzannyo gw'ebyafaayo ogwa Dan Gordon ku BBC: The John Akii-Bua Story; An African Tragedy (2008). Mu 2010, Peter yegatta ku Dayilekita wa Uganda omumanyifu Matt Bish okumuyambako mu kifo kye yali azannya mu Filimu eyawangula awaadi “S.R.B” (2010) Julius Dracu.

Pulojekiti ya Peter esembyeyo ya Walt Disney Pictures, Queen of Katwe, nga yazannya n'omukyala omuwanguzi w'a Awaadi eya Academy Award Lupita Nyong’o ne David Oyelowo. Peter yazannya nga “Mr. Barumba”, ssentebe w'ekitongole kya Chess Federation mu Uganda. Filimu eno yafulumizibwa mu Gwomwenda 2016.[1][2]

Ebimukwatako

kyusa

Odeke alina abalenzi basatu: Nkosi, Kwame ne Diallo. Abadde mufumbo eri Christine Elong okuva nga 30 Ogwekkuminogumu 2007.

Peter kati akolera mu Protocol unit Paalamenti ya Uganda.

Emizannyo gyazannye

kyusa

Filimu

kyusa
Omwaka Omutwe Ekifo ky'eyazannya Dayilekita Ebyokumanya
2005 Sometimes in April Militia Man #2 Raoul Peck Kazannya ka TV
2007 Ezra Snake Savimbi Newton I. Aduaka Feature film
2007 Shake Hands with the Devil Ghanaian Lieutenant Roger Spottiswoode Feature film
2008 The John Akii Bua Story: An African Tragedy Denis Obua Daniel Gordon Documentary
2010 State Research Bureau Julius Dracu Matt Bish Feature film
2016 Queen of Katwe Enoch Barumba Mira Nair Feature
2022 Kafa Coh Tereke Stephens Gilbert K. Lukalia Feature

Emirimu gy'okuladiyo

kyusa
Omwaka Omutwe Role Notes
2012 Kitu Kidogo
2012 Damn Seconds

Ebijuliziddwamu

kyusa

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa