Philly Bongole Lutaaya
Philly Bongole Lutaaya (19 Ogwekkumi 1951 – 15 Ogwekkumineebiri 1989) yali Munnayuganda omuyimbi era ow'amanyi eyasooka okwerangirira nti yalina Mukenenya akayitibwa HIV/AIDS. yafuuka omuzira mu ggwanga olw'okuba nga ye Munnayuganda eyasooka okuvaayo naalangirira nti yalina obulwadde buno. Gwali mwaka gwa 1988, mu kiseera nga abalina obulwadde buno bakyasosolebwa.[1] Nga tannaba kufa, yamala ebbanga ly'obulamu bwe obwali busigaddeyo,nga awandiika ennyimba ezikwata ku lutalo lweyalwana ne Mukenenya, olutambi lwe olwasembayo luyitibwa Alone and Frightened,omwali n'oluyimbalwe olwali luyitibwa "Alone", nga luva mu luyimba lw'abayimbi ba Roxette oluyitibwa It Must Have Been Love, yatalaaga amasinzizo naamasomero okwetoloola Yuganda okutambuza obubaka obukwata ku kwetangira awamu n'okuba ne ssuubi.
Lutaaya yali mwatiikirivu mu Yuganda mu myaka gya 1960,mu myaka gya 1970 yatambula mu nsi ezenjawulo omwali Democratic Republic of the Congo, Kenya, ne Japan. Wakati w'emyaka gya 1980, yabeeranga mu Stockholm, Sweden gyeyakolera olutambi lwe olwayatiikirira ennyo oluyitibwa Born in Africa, olukyali olwatiikirivu okutuusa kati mu Yuganda.
Olutambi lwa Lutaaya olwa Ssekukkulu olwafulumizibwa nga, mu 1986,[2] lwelukyali olutambi lwe olusinga obuganzi. Olutambi kuliko ennyimba eziri mu luganda, nga zeezisinga okuzannyibwa mu biseera bya Ssekukkulu mu Uganda. Mulimu ennyimba nga, "Merry Christmas, Zuukuka, Tumusinze, Ssekukkulu, Gloria, Anindiridde ne Katujaguze. Okutuusa kati, Philly Lutaaya asigadde omu ku bayimbi abasinga mu Uganda. Ennyimba za Lutaaya, agattamu enkuba ey'abazungu, kino kirabikira mu nnyimba ze okuli: "Anifa sembera, Gloria, I have a dream, the voice is crying out, sirimba, sekukkulu'' nendala nnyingi.
Ebirabo by'awangudde
kyusaMu 2004, yawangula ekirabo ky'obulamu bwe bwonna bweyawangula mu mpaka za Pearl of Africa Music Awards (PAM Awards)[3]
Oluvannyuma, mu 2007 abayimbi abenjawulo mu Yuganda baddamu ennyiba ze ezimu ezaasinga okw'atiikirira. Bebe Cool yaddamu oluyimba oluyitibwa "Born in Africa", Juliana Kanyomozi yaddamu "Diana". Iryn Namubiru ne Nubian Li a Fire Base Crew baddamu "Empisazo".
Omukululo gweyaleka
kyusaNga amaze okufa ku myaka 38, Ekibiina kya Philly Lutaaya ekiyitibwa Initiative Association kyatandikibwa ekibinja ky'abantu abalwadde naabakoseddwa olw'obulwadde buno, okubayamba okumanya obubi obubulimu. Nga bayambibwako ekitongole kya UNICEF, ekibiina kino, kiddukanya emisomo mu masomero/amatendekero ne mu bitundu ebyenjawulo okwetoloola eggwanga nga batangaaza ku nsonga eno eri abo abalina obulwadde bwa Mukenenya. Mu Yuganda,ennaku z'omwezi 17 Ogwekkumi lwe lunaku olwateekebwawo ekitongo;e ekirwanyisa Mukenenya ekya Uganda Aids Commission, okujjukira Philly Bongole Lutaaya. Mu 2014, muwala we ayitibwa Tezra Lutaaya yatandika ekitongole mu Yuganda okukuuma omukululo gwa kitaawe. Ekitongole kino kijja okutumbula embeera z'abamulekwa ne bannamwandu ezaabulijjo n'ebyenfuna byabwe nga bayita mu ttendekero Philly Lutaaya Vocational Centre mu Kanoni, Gomba. Eno Lutaaya gye yazaalibwa.
Ebikwata ku bulamu bwe biteekebwateekebwa omuwandiisi wa firimu ayitibwa Usama Mukwaya.[4]
Ennyimba ze
kyusaEntambi
kyusaLaba ne bino
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9789970447008
- ↑ http://allafrica.com/stories/201012240531.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201012240531.html
- ↑ https://www.imdb.com/title/tt16607756/?ref_=pro_tt_visitcons
- ↑ 5.0 5.1 5.2 https://web.archive.org/web/20151124160227/http://africori.com/blog/2015/10/05/philly-lutaaya-signs/
- ↑ 6.0 6.1 6.2 https://blog.afripeans.com/news/a-legend-never-dies-philly-bongoley-lutaaya
External links
kyusaLua error: Invalid configuration file.