Prudence Ukkonika
Prudence Kasibante Ukkonika munayuganda akola mu bizineensi y'eby'obulimu, y'akulira K-Roma limited abakola mu bizineensi efulumya n'okugabula omwenge gwa Bella wine gwebakamula mu bibala, ne juyisi ne n'amajaani mu Uganda.[1][2][3][4][5][6]
Obuvo
kyusaTaata wa Ukkonika, omugenzi Ludovic Kasibante, yali amannyikiddwa ng'omusuubuzi wa wayini eyalina layisinsi eyali emukirizisa okusogola omwenge (waragi mu Uganda)ng'alina ne baala mu disitulikti y'e Rukungiri bweyali ng'akyali mwana muto, wano weyafunira obwagazi mu kukola wayini wekwava.
Ukkonika yatandika okukola wayini eyali ku mutendera omutono mu 2000 nga mutabani we omugenzi Godwin Ukkonika yeyakimwagazisa kuba yeyali yakitandika eky'okukola wayini mu family. Yatandika nakugula wayini mu kyalo, ng'amutunda mu Kampala.[7]
okutegeera enkyuka kyuka mu bya bizineensi, Ukkonika yasoma diguli mu by'okudukanya bizineensi kutendekero ya Makerere University business school ne mutabani we, esira n'asinga kuliteeka mu bya kudukanya, nga mutabani we yakola byakubalirira bitabo. Esaawa eno y'adukaya n'okunoonya akatale, ng'ate mutabani we y'abala ebitalo..
Mu 2013, yasoma koosi z'okukola wayini n'afuna diguli zze zonna mu bya bizineensi oluvannyuma ku myaka 31 n'azaala abaana 6 mu myaka 7.
Emirimu gy'azze akola
kyusaNga tanagenda mu bya wayini, Ukkonika yali akola mu Ministry of finance, gyeyali okumala emyaka 37 years.
Oluvannyuma lw'okufa kwa mutabani we, yasalawo etwali ekirooto kya mutabani we eky'okukola wayini kireme kufa, wabula akitwale mu maaso. Yatandika okukola wayini ng'amufulumiza mu garagi y'amakaage, gyeyava oluvannyuma n'apangisa ekifo e Muyenga (mu nzigota z'omu Kampala) gyeyali atereka wayini mu bipipa ebya liita 200, yavaayo n'apangisa e Wandegeya, akafo mu kibuga akabeeramu emirimu buli kiseera ng'eno yeewali ne ofiisi ze kati. Oluvannyuma yazimba ekolero erisinganibwa Kira.
Ukkonika esaawa eno akozesa abantu 20 okuli n'abaana be ng'omwana we asooka yasoma bya kukola mere ng'okozesa tekinologiya nga diguli ye ey'okubiri yali mu byakukola wayini ng'era yeeyeebuzibwako ku bya bizineensi ya famire. Mutabani we y'abalirira ebitabo bya kampuni, omulala ye dereeve ate makanika.
K- Roma esaawa eno ebalirirwamu 350,000 egya doola.[8]
Ukkonika akola n'abaliimu b'omuyuganda, ng'abasinga bakyala abalima ebibala.[9]
Ensangi zino ali mu byakukola nakutunda mwenge gwa bella wine mu Uganda, Rwanda, Tanzania ne Kenya.[10][11]
Famire
kyusaPrudence Kasibante Ukkonika yafumbirwa Seraph Amen Ukkonika nga balina abaana 6.
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.forbesafrica.com/woman/2018/03/15/something-to-wine-about-2/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1304535 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/articledetails/1304535 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/uganda/business/prosper/bella-wine-mellows-from-sitting-room-brewery-into-winery-1566958 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://ugandaradionetwork.net/story/bella-wine-a-brand-conceived-in-the-kitchen - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.pmldaily.com/news/2020/02/bella-wine-represents-east-africa-at-prodexpo-in-russia.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.bukedde.co.ug/articledetails/114775 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://african.business/2015/04/agribusiness-manufacturing/breaking-stereotypes-in-ugandan-agriculture/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://harvestmoney.co.ug/?p=19623 - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220927100734/https://www.womenconnect.org/web/uganda/access-to-markets/-/asset_publisher/ZZqe8r4DHT9A/content/bella-wines-and-juices - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.observer.ug/businessnews/55362-east-african-community-free-market-not-free.html