Pumla Ellen Ngozwana Kisosonkole (1911–1997) yali Munnayuganda era omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala mu bitongole by'abakyala.

Ebimukwatako kyusa

Pumla Ellen Ngozwana   Yazaalibwa mu South Africa mu 1911 eri abaweereza b'omu kkanisa ya Methodist church.[1] Yafuna obuyigirize okuva mu masomero g'eddiini era yegatta ku University of Fort Hare mu Alice, Eastern Cape.[2] Yagenda mu Bungereza, okweyongerayo mu misomo gye mu ttendekero ly'abasomesa erya Institute of Education.[3] Oluvanyuma yawandiika akatabo k'eyatuuma "Education as I Saw It in England".[4]

Yafumbirwa Omwami Munnayuganda Christopher Kisosonkole mu 1939. B'aggya mu Uganda, ng'eno Pumla gye yasalawo okwetaba mu by'obufuzi. Yamala emyaka munaana ng'akwasaganya eby'enkulakulana by'ekitundu era yasomesaako ku ssomero lya King's College Budo. Mu 1956 yalondebwa okwegattaka ku Kkakiiko akateeseza eggwanga aka Uganda (LEGCO) aka Gavumenti.[5] Ye mukyala eyasooka okuyingira akakiiko akateeseza eggwanga mu Africa.[6] Yaweerezak ng'omukiise akiikiridde Uganda mu kaseera k'enkyukakyuka ezaaliwo nga Uganda efuna obw'etwaze okuva mu bukulembeze bw'amatwale.[7] Yatandiika nga pulezidenti w'akakiiko k'abakyala mu Uganda aka Uganda Council of Women mu 1957. Ye mukyala Omufirika eyasooka okuweereza mu kifo ekyo. Okuva mu 1959 okutuusa mu 1962 yali pulezidenti w'akakiiko ka International Council of Women. Ssabaminisita Milton Obote yamulonda okuweereza mu kitongole ky'Amawanga amagate mu 1963. Mu myaka gya 1960 yali mukugu mu UNESCO.

Pumla Kisosonkole yafa mu 1997.[8]

Ebijuliziddwamu kyusa