Queen Elizabeth National Park

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth National Park kifo ekikuumirwamu ebisolo mu Uganda.[1]

Queen Elizabeth National Park

Gye LisangibwaLocation kyusa

QENP eri mu buvanjuba bwa Uganda, lyebulunguluddwa disitulikiti okuli Kasese, Kamwenge, Rubirizi, ne Rukungiri. Liri ku buwanvu bwa kkiromita 400 (250 mi) mu maserengeta g'obukiika kkono okuva mu kibuga kya Uganda ekikulu Kampala.[2] Ekibuga Kasese kiri mu mambuka g'obukiikaddyo g'ekkuumiro lino. ate ekibuga Rubirizi kyo kisangibwa mu kingizi z'amaserengeta z'obukiikakkono[3]. Ekkuumiro lizingiramu ekibira kya Maramagambo era lisalagana n'amakuumiro g'ebisolo omuli Kigezi, Kyambura, ne Kibale mu Uganda wamu n'ekkuumiro ly'ebisolo erya Virunga mu Democratic Repubilc of Congo.

Ebyafaayo kyusa

Ekkuumiro lyatandikobwawo mu 1952 nga lyasooka kuyitibwa Kazinga National Park. Oluvannyuma lw'emyaka ebiri lyakyusibwa erinnya okujjukira okukyala kwa Queen Elizabeth II[4].

Obufunze kyusa

 
Empologoma mu Ishasha .
 
Envubu mu Kazinga Channel, Queen Elizabeth National Park

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth litudde ku bwagaagavu bw'ettaka nga bwa sukweya kirominata 1,978 (764 sq mi)[5]. Ekkuumiro lituuka ku Lake George mu mambuka g'okukiikaddyo okutuuka Lake Edward mu maserengeta g'obukiikakkono era ezingiramu kazinga Channel egatta ennyanja zombi.

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth National Park limanyiddwa olw'ebisolo byalyo omuli embogo, Empeewo, Envbu, Embizzi z'omunsiko, Goonya, Njovu, Engo, Empologoma, ne Kimpanze. Ekkuumiro lino maka g'ebisolo ebiyonsa 95 n'ebinyonyi ebisukka mu 500. Ekifo ekyebulunguludde ishasha mu disitulikiti y'e Rukungiri kimanyiddwa olw'empologoma ezirinnya emiti ng'ensajja zirina amooyo amaddugavu ku mugongo[6]. Abayizzi abatali mu mateeka batta enjovu mukaaga mu 2015, ekyaleeta obusungu n'okusobwerwa mu balwanirira eddembe ly'ebisolo mu Uganda.

Ekkuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth National Park n'eririraanye erya Virunga National Park kkuumiro lya Mpologoma[7]. Kye kifo ekisingamu Empologoma mu massekkati ga africa singa okuyigga ebisolo okutali mu mateeka kuba kukomezeddwa n'ebika ebirala ne bivumbulwa[8].

Ekkuumiro limanyiddwa olw'ebintu byalyo ebyetondawo omuli obutunnumba, ennyanja ezisangibwa ku nsozi waggulu nga katwe esimibwamu omunnyo[9].

obuweereza mu kkuumiro mulimu nga kampuni y'ebyempuliziganya eddukanyizibwa Conservation Through Public Health ne Uganda Wildlife Authority, okuliraana Queen's Pavilion, ebusulo, emizannyo egy'enjawulo, n'okuvuga amaato[10].

Obukwatane kyusa

QENP ne Queen Elizabeth Country Park mu Bungereza galina obukwatane mu pulojekiti "y'okutabaganya ebyobuwangwa n'ekigendererwa ky'okuyamba okubikuuma nga bayita mu kukolera awamu n'okutumbula ebitundu"[11]

Ebijuliziddwa kyusa

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. Globefeed.com (29 October 2016). "Distance between Kampala Road, Kampala, Uganda and Mweya, Western Region, Uganda". Globefeed.com. Retrieved 29 October 2016.
  3. Template:Google maps
  4. UWA (2016). "Queen Elizabeth National Park: History". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 31 July 2019. Retrieved 29 October 2016.
  5. UWA (29 October 2016). "Queen Elizabeth National Park: Geography and Climate". Kampala: Uganda Wildlife Authority (UWA). Archived from the original on 31 July 2019. Retrieved 29 October 2016.
  6. QENP (2016). "The tree climbing lions of Queen Elizabeth National Park in Uganda". Mweya: Queen Elizabeth National Park Uganda (QENP). Retrieved 29 October 2016.
  7. IUCN Cat Specialist Group (2006). Conservation Strategy for the Lion Panthera leo in Eastern and Southern Africa. Pretoria, South Africa: IUCN.
  8. Treves, A., Plumptre, A. J., Hunter, L. T., & Ziwa, J. (2009). "Identifying a potential lion Panthera leo stronghold in Queen Elizabeth National Park, Uganda, and Parc National Des Virunga, Democratic Republic of Congo". Oryx. 43 (1): 60–66. doi:10.1017/s003060530700124x.{{cite journal}}: CS1 maint: uses authors parameter (link)
  9. MSL (2016). "Mweya Safari Lodge: Katwe Explosion Crater". Mweya: Mweya Safari Lodge (MSL). Retrieved 29 October 2016.
  10. CTPH (2016). "Welcome to CTPH: CTPH achieves biodiversity conservation by enabling people, wildlife and livestock to coexist through improving their quality of life in and around Africa's protected areas". Conservation Through Public Health. Retrieved 29 October 2016.
  11. QECPUK (29 October 2016). "Welcome to The Queen Elizabeth Parks Twinning Project". Queen Elizabeth Country Park United Kingdom (QECPUK). Retrieved 29 October 2016.