Rama Jacqueline Aol (eyali Aol Jacqueline), era amanyikiddwa nga Aol Rama, (yazaalibwa nga 26 Ogusooka mu 1969) mukyaala Munnayuganda ow'ebyobufuzi era social worker. Ye mubaka omukyaala akiikirira Distulikitti y'e Nebbi mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi (2016 to 2021). Aol ali mu kibiina eky'obufuzi ekifuga ekya National Resistance Movement (NRM).[1]

Ebimukwatako n'emisomo

kyusa

Aol mufumbo.[1] Wansi wano we wali ebikwaata ku misomo gye:[1]

Omwaka mwe baamutikira Bye yasoma Ekika EttendekeroInstitution
1985 UCE Uganda Certificate Of Education Sacred Heart Gulu
2004 Counselling and Guidance Certificate Certificate Nsamizi
2006 Dipulooma Dipulooma Nsamizi
2007 Addiction Studies Certificate Certificate Nkozi University
2014 UACE Uganda Advanced Certificate of Education Arua Hall (UNEB)
2014 Certificate in Monitoring and Evaluation Certificate Ndejje University
2014 Certificate in Oil and Gas Reporting Certificate Africa Centre for Media Excellence
2014 Certificate in Radio Production Certificate BBC World Service
2014 Certificate in Peace and Conflict Sensitive Reporting Certificate Internews Network
2014 Certificate in Farm Talk Production Certificate Farm Radio International
2014 Certificate in Online Journalism Certificate Learn BBC World Service Trust
2014 Certificate in Computer Applications Certificate Ndejje University
2017 Bachelor of Development Studies (On going) Bachelor's degree Ndejje University

Emirimu nga taneegatta ku by'obufuzi

kyusa

Mu 2005, yakola nga counselor ku Serenity Centre. Oluvanyuma mu mwaaka gwe nyini, yegatta ku Community Action Against Alcoholism and Drug Abuse nga dayirekita okutuusa kati.[1] Wakati wa 2006 ne 2013, yaweereza nga mmemba wa board ku ttendekero lya Arua Technical Institute, Ragem. Wakati wa 2010 ne 2014, Aol yakola nga ssentebe wa West Nile Consortium mu kujawo okitulugunya bantu. Okuva mu 2007 okutuusa 2015, yakola nga ow'ebyamawulire ku Arua Diocese Media Centre-Radio Pacis. Okuva mu 1991 okutuusa 2001, yaweereza nga Clerical Officer ku Gavumenti ya wansi eya Disitulikitti y'e Nebbi era n'akolayo nga Clerical Officer mu Dipaatimenti y'omulamuzi wakati wa 1986 ne 1991.[1]

Eby'obufuzi

kyusa

Nga tanegatta ku Paalamentti ya Uganda nga Mmemba wa Paalamenti owa Disitulikitti y'e Nebbi mu mwaka gwa 2016, Aol yaweereza nga speaker wa Oluk Sub-County, Arua District okuva mu 2011 okutuusa 2014.[1]

Aol aweereza mu kifo ekirala mu Paalamentti ya Uganda mga mmemba w'akakiiko k'eobwenkanya ne by'obulimi aka Equal Opportunities and Agriculture.[1] Era aweereza wansi w'ekibiina kya full membership of professional bodies of the Uganda Journalists Union.[1]

Yalaga okukwatibwaako ku nsonga z'abawala abava mu somero amangu mu Nebbi olw'okufumbirwa nga bakyaali bato.[2]

Emirimu nga avudde mu Paalamenti

kyusa

Mu 2019, yateekawo ekibiina kya West Nile Women Development Agency (WEWODA).[3]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

kyusa