Regina Amollo
Regina Amollo (yazaalibwa. 1954) Munnayuganda, muwadiisi.[1]
Ebimukwatako
kyusaYatendekebwa nga Nnansi, Amollo yatandiika okuwandiika akatabo ke akasooka, A Season of Mirth, mu 1976.[2] Yakuutirwa Pulofeesa we okumaliriza akatabo ke, Austin Ejiet, naye ky'atwala abbanga okutuuka mu 1999 akatabo ke okufulumizibwa.[2] Akatabo akanyonyola enkola z'abasajja n'okutulugunyizibwa kw'abakyala mu Uganda,[3] era kati kisomebwa abayizi ba Uganda.[2]
Amollo yawummula obusawo mu 2009. Afulumiza obutabo obuwerako omuli When Mother Leaves Home ne The Pain of Borrowing.[1] Yawandiika akatabo akayigiriza abaana okusoma nga kali mu lulimi lwa Kumam, Pwonyo Isoma Itabu Me Agege, era n'ekitabo eky'afulumizibwa ekirimu emboozi ez'ogera ku bawandiisi abakyala ekiyitibwa Those Days in Iganga.[2]
Ebijuliziddwamu
kyusa