Richard Kaigoma Sseruwagi (yazaalibwa nga 8 Ogwomunaana 1954), Munnayugandaawangalira mu Swedenmuzannyi wa filimu era omuyimbi.[1] Amanyikiddwa mu kifo eky'enkizo kye yazannya mu filimu eyawangula Awaadi eya nga "Sekou" mu While We Live

Ebimukwatako

kyusa

Yazaalibwa nga 8 Ogwomunaana 1954 mu Matanga, Masaka, Uganda. Yasomera ku Abafumi Theater Academy mu Kampala, Uganda.[2]

Emirimu gye

kyusa

Yava mu Ggwanga mu 1977 mu bukulembeze bw'omufuzi nnakyemalira Idi Amin oluvanyuma lw'okuloza ku bukaambwa bw'omukulembeze olw'emizannyo gye egy'obufuzi gye yali y'etabamu mu fiyeta. Mu 1978, yaweebwa obubudamo mu Sweden era oluvanyuma n'afuuka omutuuze wa Sweden 

Yatandika okuzannya mu fiyeta za Sweden okumala emyaka egiwerako. Mu bwangu yafuuka omuzannyi ow'amaanyi era omututumufu mu Sweden nga yazannya mu Tre Kronor (Three Crowns) ogw'amuggulirawo enziji mu kisaawe ky'okuzannya filimu.[3]

Mu 2019, yazannya mu filimu ya Tunisia While We Live eya dayilekitingibwa Dani Kouyaté. Filimu eno yafuna obuganzi era n'eragibwa m bikujjuko bya filimu eby'enjawulo. Filimu eno oluvannyuma yawangula awaadi ya Filimu esinze nga yazannyibwa Omufirika awangaalira ebulaaya mu mpaka za Africa Movie Academy Awards mu Lagos, Nigeria.[4]

Okuggyako eby'ozannya filimu, Sseruwagi era muyimbi.[5]

Filimu ze y'azannya

kyusa
Omwaka Filimu Ekifo ky'eyazannya Ekika kya filimu Ref.
1993 Speak Up! It's So Dark... Omunoonyi w'obubudamo Filimu
1996 Tre kronor Salongo Sali kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
1996 The White Lioness Tsiki Filimu
2005 The Laser Man Charles Mutero kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2007 Köra runt The Pick-Up Guy Filimu ennyimpi
2009 Familjen Babajou uncle Jacob kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2009 På Perrongen Brunost54 Filimu ennyimpi
2011 Arne Dahl: Misterioso Kimbareta Makanga kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2012 Äkta människor Läkare kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2015 100 Code Ditective 2 kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2015 Beck Imam Ali Yousuf Boudin kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2015 The Prosecutor the Defender the Father and His Son Third judge Filimu
2016 Springfloden Mikael Florén kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2016 While We Live Sekou Filimu
2018 Dansa först Grandfather George Filimu
2018 Alone in Space General Frank Harrison Filimu
2021 Successful Thawing of Mr. Moro Milo Moro Filimu ennyimpi
2021 Änglavakt Patrice kazannyo akalagibwa k'obutundu akalagibwa ku TV
2021 Notes Neighbor Filimu ennyimpi
TBD Andra akten Tyson Filimu
TBD Att Rädda En Pojke Abdi Filimu

Ebijuliziddwamu

kyusa
  1. https://sverigesradio.se/avsnitt/837465
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-10-01. Retrieved 2022-12-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.dramaten.se/Medverkande/Rollboken/Person/4938
  4. https://www.cineuropa.org/en/newsdetail/331511
  5. https://open.spotify.com/artist/1yO4HMNbOvY0koPj6WsQZb

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

kyusa
  • Richard Sseruwagi at IMDb

Lua error: Invalid configuration file.