Rita Atukwasa mubaka mu lukiiko lwa Uganda olukulu mu lutuula olw'okkumi n'emu. Mukugu mu kwekenneenya enkola okutambulira eggwanga. omukugu mu by'ekikula ky'abantu era omutendesi w'ebyenfuna n'obwenkanya. Era yali akulira ekitongole kya The Institute for Social Transformation (IST) Uganda.[1] Ye mubaka omukyala akiikirira ekibuga Mbarara mu lukiiko lw'eggwanga olukulu, oluvannyuma lw'okuwangula mu kalulu akaakubwa mu gatonnya wa 2021 nga yeesimbawo ku bwannamunigina. Rita y'omu ku batuula mu lukiiko lw'ekibiina ekirwanirira obwenkanya eri abakyala.

Atukwasa Rita

Obuyigirize

kyusa

Rita Atukwasa yatikkirwa diguli mu nkolagana n'abantu n'ebyobufuzi okuva ku ssetendekero wa makerere mu 2001. Era yafuna dipuloma ya okuva mu Institute for Training for Transformation South Africa. Oluvannyuma yakola diguli mu byobufuzi n'obufuzi okuva mu Uganda Management Institute mu 2016.

Emirimu

kyusa

Rita Atukwasa yakulirako enteekateeka mu kibiina kya Advocacy human Rights for the Kamwokya Christian Caring Community okuva mu mwezi gwa muwakanya wa 2004 okutuuka mu 2011.[2] Oluvannyuma Rita yaweereza ng'omukulu w'ekibiina ekigatta ababaka abakyala mu lukiiko lw'eggwanga olukulu of the Parliament Of Uganda okutuusa nga kasambula, 2012.[3] Oluvannyuma yaweereza nga omwekenneenyi w'enkola z'obukulembeze mu kitongole kya Institute for Social Transformation okuva mu gwomunaana gwa 2012 okutuuka mu mwaka gwa 2016 nga tannafuuka akulira ekitongole kyakyo mu mwaka gwa 2016 okutuuka kati.[4] Rita Atukwasa ye mubaka omukyala akiikirira ekibuga Mbarara mu lukiiko lw'eggwanga olulukulu.[5]

Laba ne

kyusa

Ebijuliziddwamu

kyusa

 

  1. https://ist-tft.org/
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/atukwasa-rita-10552/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-25. Retrieved 2022-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. http://uwopa.or.ug/
  5. https://ist-tft.org/