Robinnah Nabbanja

Robinah Nabbanja, yazaalibwa nga 17 Ogwekumineebiri mu 1969 nga musomesa Omunayuganda ng'era Munabyabufuzi, nga awereza nga Saabaminisita wa Uganda, oluvannyuma lw'okubeera nga yali alondeddwa okubeera mu kifo kino nga 8 Ogwomukaaga mu 2021. Paalamenti yamukakasa mu bujuvu nga 21 Ogwomukaaga mu 2021.[1] Yadika Ruhakana Rugunda, eyali awereddwa ekifo ky'okubeera ku luseregende lw'emmotoka ezivunaanyizibwa ku mirimu egy'enjawulo mu ofiisi ya Pulezidenti wa Uganda. Ye mukyala eyasooka okubeera saabaminisita wa Uganda.[2]

Mu kusooka yali akola nga Minisita Omubeezi Ow'ebyobulamu ow'ensonga zonna mu kabineeti ya Uganda wakati wa 14 Ogwekumineebiri mu 2019[3], okutuuka nga 3 Ogwokutaano mu 2021.[4]

Kuno kw'ateeka n'okubeera ng'awereza nga Omubaka wa Paalamenti omukyala akiikirira Konsitituweensi ya Disitulikiti ya Kakumiro mu Paalamenti eyekumineemu okuva mu 2021, okutuuka mu 2026, a role she also carried in the 10th Parliament (2016–2021).

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Yazaalibwa mu Disitulikiti ya Kakumirio nga bw'eyitibwa esangi zino, nga 17 Ogwekumineebiri mu 1969. Yasomera ku Nkooko Primary School. Oluvannyuma n'agenda ku St. Edward's Secondary School e Bukuumi, gyeyatuulira S4 ne S6.[5]

Wakati wa 1990 ne 2000, Nabbanja yafuna satifikeeti ne Dipulooma mu By'obukulembezze, okubidukanya wamu n'okubikulakulanya okuab mu matendekero ag'enjawulo nga muno mwalimu Uganda Martyrs University, Uganda Management Institute, Islamic University in Uganda ne the National Leadership Institute e Kyankwanzi. Diguli ye mu Demokulasiya n'okulakulanya ebifo, wamu ne Diguli ye Ey'okubiri mu Kulakulanya ebitundu nga zombi zaamuweebwa ba Uganda Martyrs University.[5]

Mu Gwomwenda mu 2023, yatikirwa ne Diguli Ey'okubiri mu Bwakalabalaba n'Okusalawo okwenkomeredde nga yagifuna okuva ku Yunivasite y'e Nkumba.[6]

 
Nabbanja

Emirimu gye

kyusa

Okuva mu 1993 okutuuka mu 1996, Nabbanja yali musomesa ku Uganda Martyrs Secondary School e Kakumiro. Oluvannyuma yawereza nga Kansala wa Disitulikiti, akiikirira e gombolola lya Nkooko mu gyebaali bayita Disitulikiti y'e Kibaale mu kaseera ako, okuva mu 1998 okutuuka mu 2001. Kuno kweyateeka okuwereza nga Omuwandiisi ku By'obulamu, Ekikula ky'abantu wamu n'emirimu gy'ebitundu mu Disitulikiti mu kaseera ako.[5]

Oluvannyuma yamala emyaka 10 okuva mu 2001 okutuuka mu 2010, ng'awereza nga ayambako gavumeenti z'ebitundu mu kulakulanya entegeka zebalina eri abantumu Disitulikiti y'e Pallisa, Busia ne Budaka. Mu 2011, yeegata ku by'obufuzi bwa Uganda obulimu okukuba obululu era neyeesimbawo ku ky'omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti y'e Kibaale mu Paalamenti eyomwenda okuva mu 2011 okutuuka mu 2016, yeesimbawo ku ky'omukyala eyali agenda okukiikirira konsitituweensi u disitulikiti empya, era n'awangula. Ye mubaka eyali mu kifo kino n'addamu ne yeesimbawo era n'akiwangula.[5]

Mu kukyusakyusa kabineeti nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019, Nabbanja yaweebwa ekifo ky'okubeera Minisita Omubeezi Ow'ebyobulamu ku mirimu gyonna, ng'adira Sarah Achieng Opendi eyali awereddwa okubeera Minisita Omubeezi ow'ebyomugagga by'omuttaka.[3][7] Oluvannyuma lw'okukirizibwa Paalamenti, yalayizibwa okuyingira ofiisi nga 13 Ogusooka mu 2020.[8]

Mu kabineeti empya eyalangirirwa nga 8 Ogwomukaaga mu 2021, Nabbanja yalangirirwa nga Saabaminisita mu kabineeti ya babaka abasoba mu 82 eya 2021 okutuuka mu 2026.[9][5]

Obukuubagano

kyusa

Mu Gwekumineebiri mu 2021, mu kulonda okwali tekulinda okwa LC5 wa Kayunga, Robinah Nabbanja yagenda okukola kakuyege ow'enaku taano, era nga baali bamulumiriza okubeera nga yali agaba enguzi ya 4,000/= eza ssente za Uganda okulonda eyali yeesimbyeyo ng'ali mu kibiina kya NRM Andrew Muwonge.[10]

Laba ne bino

kyusa

Ebijuliziddwaamu

kyusa

Ewalala w'oyinza okubigya

kyusa

Template:S-start Template:S-off Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-inc Template:S-end