File:Rolling Stone 1000th Issue May June 2006.png
Rolling Stone

Rolling Stone lwali lupapula lwa mawulire olufulumya ennyo amawulire agatali gaabulijjo nga lufuluma buli luvannyuma lwa wiiki mu Kampala, Uganda. Olupapula luno lwasooka kufulumizibwa nga 23 ogwomunaana 2010, ku biragiro by'omuvubuka ow'emyaka 22 Giles Muhame ne banne beyasoma nabo ku Ssetendekero e Makerere.[1][2] Okusinziira ku Muhame, erinnya ly'olupapula luno lyava ku jjinja eriyitibwa enkurungu: "Njogera ya kintu ekiyinza okuttibwa singa ekitangaala eky'amanyi kikwonwako butereevu."[1] Olupapula lwali lutono nnyo era okugerageranya kkoopi 2000 zokka ze zaali mu bantu.[2] Lwawummuza emirimu gyalwo mu gwekkuminogumu 2010 oluvannyuma lw'ensala ya kkooti enkulu eyagamba nti terwali ku miramwa gitambulizibwako ddembe lya Buntu nga lugezaako okufulumya ebintu ebiyinza okuviirako okufa kw'abantu. Era omu ku abo abaanokolwayo kwaliko, David Kato, eyatemulwa.

Olupapula luno lwali lukolagana n'akatabo ka America akayitibwa Rolling Stone, oluvannyuma ak'agerageranya n'olupapula lwa Uganda ng'entiisa era lwa wakanya erinnya eyo.[3]

Okuwaaba ku bya Sodom

kyusa

Nga 9 Ogwekkumi 2010, lwakupa eggulire ku muko ogusooka n'omutwe omunene ogugamba nti "Ebifaananyi 100 by'abasiyazi" nga gulaga olukalala lw'amannya g'abantu 100 abasiyazi n'ebifaananyi byabwe nga kuliko n'akakongo akyenvu akasoma nti "batwalibwe ku kalabba".[2][4] Olupapula era lwayogera nti abasiyazi bano baalina ekigendererwa ky'okuyingiza abaana Bannayuganda abato mu kintu kino. Eggulire lino ly'asikiriza abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu okuva mu mawanga g'ebweru n'ebitongole ebitakabanira eddembe ly'obuntu okugeza ekitongole kya Amnesty International,[5] No Peace Without Justice[6] ne International Lesbian, Gay, Bisexual, Trans and Intersex Association.[7] Okusinziira ku ddembe ly'abasiyazi, Bannayuganda bangi baalumbibwa oluvannyuma lw'amawulire gano agaafulumizibwa ku basiyazi. [8] Kigambibwa nti omukyala omu katono attibwe amayinja balirwana be bwe baagamukasukira ku nnyumba ye.[9]

Mu ngeri yemu, olupapula luno lwateeberezebwa okubeera n'akakwate ku batujju ba al-Shabaab okuva e Somalia era Bannayuganda abasiyazi ku mutwe omunene "Ba Genero abasiyazi baalumbye Kampala n'ebikolwa by'obutujju" nga lwesigama ku bikolwa by'obwannalukalala ebyaliwo mu gwomusanvu 2010 e Kampala.[1]

Omusango gwa kkooti

kyusa

Oluvannyuma lw'esuula ey'okubiri nga lumenye amannya g'abagambibwa okuba abasiyazi, ekitongole ekirwanirira eddembe ly'abasiyazi ekya Sexual Minorities Uganda kyaggulawo omusango ku lupapula luno mu kkooti enkulu. Nga 2 Ogwekkuminogumu 2010, kkooti yayisa ekiragiro okulekerawo okwasanguza amannya ga bannayuganda abasiyazi wamu n'okuggalawo baliwe ensimbi akakadde kamu n'emitwalo 50 mu za Uganda okwo ogotteko n'ebisale bya kkooti ebyasaasanyizibwa mu musango ogwo era abo abawaabi.[10][11][12] Ensala ya kkooti yategeeza nti ebikolwa by'okwasanguza amannya g'abantu bano kwali kulinnyirira ddembe lya buntu wamu n'okwanika obuziina bw'abo abateeberezebwa okuba abasiyazi mu ggwanga.

Amangu ddala nga kkooti eyisizza ekiragiro kino, Muhame yategeeza abamawulire nti olutalo kasiggu ku basiyazi lukyagenda mu maaso. Tuteekeddwa okutangira abaana baffe okutusiibwako ebikolwa eby'ekko nga bino eby'obusiyazi.[11] Mu gw'oluberyeberye 2011, yalangirira okutwala okujulira kwe ku kiragiro kkooti kye yayisa. Yategeeza nti baali bakunganya emikono okuva mu bannayuganda eginaabayamba okutwala okujulira kwabwe mu kkooti. [13]

Akatabo ka America bwe baali bagabana erinnya n'olupapula lwa Uganda kaayita ebikolwa by'amawulire gano okubeera eby'entiisa era okuva olwo ne kasaba olupapula luno okulekera awo okukozesa erinnya lyako era Rolling Stone.[3] Newankubadde akatabo kano kaalina katuufu mu mateeka naye mu Uganda kaali tekawaddeyo bukwakkulizo bulemesa linnya lino kukozesebwa. Nga Jann Wenner, akafulumya bwe yagamba, "Tetulina kya kukola", Erinnya lyaffe teryassibwako nvumbo mu Uganda. Tuvunaanyizibwa ku linnya lino mu mawanga amalala. Wabula tuteekeddwa okubeera n'obuvunaanyizibwa ku linnya lyaffe mu Uganda."[14]

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mawulire mu nsi yonna kyasindikira Muhame ebbaluwa nga kimunenya olw'ebikolwa bye oluvannyuma lwa kkooti ya Ssemateeka ekuggalawo olupapula lwe. "Ekitongole kino kigamba nti olupapula luno bwe lugenda mu maaso n'okufumya obulamu bw'abantu obw'ekusifu luba luleetawo akasambattuko mu bantu abo, ate ng'amawulire galwanirira ddembe lya bantu. Ebikolwa bino eby'ekigu mu baamawulire bisobola okulabisa obubi abaamawulire era nga kibeera kizibu nnyo okulwanirira eddembe lyabwe nga tewali bukwakkulizo eri Gavumenti zaabwe.[15]

Okutirimbulwa kwa Kato

kyusa

Omu ku bannayuganda abasiyazi abatono David Kato akulira abantu bano, eyateekebwa ku lukalala era abaatwala omusango mu kkooti yattibwa mu makaage eyamukuba ennyondo bbiri ku mutwe era n'afiirawo.[16] Akatabo ka American akayitibwa Rolling Stone,[10] olupapula lwa The New York Times[17] n'ensonda endala zaategeeza nti okuttibwa kwa Kato kwekuusa ku bukuubagano obwaliwo wakati w'olupapula lwa Rolling Stone n'okulwanirira eddembe ly'abantu era ekitongole kya and Amnesty International byonna byayita wabeerewo okunoonyoleza ku musango ogwo wamu n'okulwanirira eddembe ly'abasiyazi.[18]

Muhame yavumirira ettemu lino era n'aweereza obubaka bw'okunyworwa eri ab'enganda z'omugenzi Kato wabula yagattako nti olupapula lwe teruvunaanyizibwa ku kufa kwe wabula okulumbibwa abantu abaamukuba. Yagattako nti teri yejjusa ku mboozi eyafulumizibwa. Wabula okulabisa aba bonna abakola ebikolobero.[19] Muhame yategeeza olupapula lwa Daily Monitor nti Kato ye yaviirako okufa kwe. Abadde mulagajjavu eri obulamu bwe. Kato abadde kyabuswavu eri ensi ye.[20] Ku mukutu gwa CNN, yagamba nti, bwe twagamba ku ky'okwanika abasiyazi ku kalabba, twategeeza okuyita mu mateeka okuttibwa wabula so si kutirimbulwa mu bitaba by'omusaayi nga bwe gubadde.[21]

Laba na bino

kyusa

Ebijuliziddwa

kyusa
  1. 1.0 1.1 1.2 Xan Rice (June 2011). Cite error: Invalid <ref> tag; name "Atlantic" defined multiple times with different content
  2. 2.0 2.1 2.2 http://www.nbcnews.com/id/39742685
  3. 3.0 3.1 https://web.archive.org/web/20101023072400/http://www.rollingstone.com/politics/news/17390/223945
  4. https://www.theguardian.com/world/2010/oct/21/ugandan-paper-gay-people-hanged
  5. https://www.amnesty.org/en/news-and-updates/ugandan-gay-rights-activist-%E2%80%98i-have-watch-my-back-more-ever%E2%80%99-2010-11-05
  6. https://web.archive.org/web/20110201032313/http://ilga.org/ilga/en/article/mE8jac21Q7
  7. https://web.archive.org/web/20110201032313/http://ilga.org/ilga/en/article/mE8jac21Q7
  8. https://www.independent.co.uk/news/world/africa/outcry-as-ugandan-paper-names-top-homosexuals-2113348.html
  9. https://www.bbc.co.uk/news/world-africa-11666789
  10. 10.0 10.1 http://www.humanrightsfirst.org/2011/01/04/court-affirms-rights-of-ugandan-gays/
  11. 11.0 11.1 https://web.archive.org/web/20101105022952/http://af.reuters.com/article/topNews/idAFJOE6A103F20101102
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2012-10-22. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. Giles Muhame (3 January 2011).
  14. http://nymag.com/daily/intel/2010/10/jann_wenner_who_would_have_tho.html
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2015-06-22. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. Xan Rice (27 January 2011)
  17. Jeffrey Gettleman (27 January 2011).
  18. Xan Rice (29 January 2011).
  19. Xan Rice (29 January 2011).
  20. Risdel Kasasira (28 January 2011).
  21. http://edition.cnn.com/2011/WORLD/africa/01/28/uganda.gay.activist/index.html?hpt=T2