Rose Mutonyi Masaaba era amanyikiddwa nga Rose Mutonyi Munnayuganda Omusomesa,[1] era munnabyabufuzi abadde omubaka omukyaala akiikirira Disituliktti y'e Manafwa Bubulo County West ,[2] ekifo ky'abaddemu okuva mu mwaka gwa 2016.[3][4] Ali mu kibiina eky'obufuzi ekya National Resistance Movement.[3][4]

Ebimukwaatako n'emisomo kyusa

Yazaalibwa nga 20 Ogwomunaana mu mwaka gwa 1949.[3][4] Rose Mutonyi Masaaba yasoma emisomo gye egya siniya mu somero lya Nyondo Junior Secondary School mu mwaka gwa 1964.[3]

Mu mwaka gwa 1968 yatikibwa nga omusomesa owa Grade II ne satifikeetti mu mwaka gwa 1974 rose atikibbwa nga Grade III teacher ne satifikeetti ya Grade III Teachers Certificate mu mwaka gwa 1979. Rose yafuna Dipulooma mu by'Enjigiriza era oluvanyuma mu mwaka gwa 1986, yafuna diguli ya bachelor's mu Arts era ku nkomerelo mu mwaka gwa 1997 yatikibwa ne diguli ya Master mu by'Enjigiriza mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere] era obuyigirize buno bwonna yabufunira ku [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere] mu myaka ejyenjyawulo.[2]

Obumanyirvu mu mirimu kyusa

obumanyirivu mu mirimu Tabulated
Omutwe Ettendekero Omwaka
Counsellor Minisitule y'ensonga z'ebweeru 2003–2010
Omukulembeze w'okutiko Nazigo Teacher Training College 1989–1997
Omumyuuka w'omukulembeze w'okuntiko Busubizi Teacher Training College 1986–1988
Omusomesa Gangama Pulayimale School 1976
Mmemba wa Paalamenti Paalamenti ya Uganda 2016 okutuusa kati
Omusomesa Nabuyonga Primary School 1974–1975
Omusomesa Muyembe Girls Primary School 1971–1972
Omusomesa Nyondo Demonstration School 1969–1971

Mutonyi yaweerezaako lumu nga counsel n'avunaanyizibwa ku by'embalirira nga accounting officer ku Uganda's foreign missions mu New Delhi ne Dar es Salaam.[2] Yaafiisi ye ey'ebyobufuzi eri mu Sibanga Sub County mu Sibanga Trading Center.[5]

Emirimu gy'omu Paalamenti kyusa

Okujako emirimu jye nga speaker wa Paalamenti ya Uganda, atuula ku bunno obukiiko bwa Paalamenti:[3]

  • Akakiiko k'ensonga z'ebweru nga Ssentebe.[2]
  • Akakiiko ka Bizinensi, Mmemba.
  • Akakiiko ku bya Sayansi ne Tekinoloogiya, Mmemba.

Obulamu bwe kyusa

Wa nzikiriza ye ki katuliki.[5]

Laba na bino kyusa

Ebijuliziddwa kyusa

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/minister-kitutu-battles-4-new-challengers-for-manafwa-seat--2722350
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 https://observer.ug/news/headlines/53722-rose-mutonyi-ambassadors-put-marriages-at-risk
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 3.4 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=319
  4. 4.0 4.1 4.2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-04-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 https://www.mpscanug.com/profile/mutonyimasaabarose/

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya kyusa