Rose Mwebaza
Rose Mwebaza munayuganda awerezanga akulira ekitongole ekya Climate Technology Centre & Network (CTCN), ekitongole ekikola ku nkola eya UN Framework Convention on Climate Change (UNFCCC) Technology Mechanism, ekuddukanyizibwa ekitongole kya United Nations Industrial Development Organization (UNIDO) n'ekitongole ekya UN Environment Programme. Mwebaza era akola ng'omuwandiisi w'akakiiko akawabuzi aka UNFCCC.
Ebyafaayo n'okusoma
kyusaMwebaza alina diguli mubyamateeka (LL.B, Hons.) okuva mu Makerere University, Kampala, Uganda. Alinane diguli ey'okubiri mu International Comparative Law ne Certificate of Academic Excellence okuva mu University of Florida, U.S.A. Yafuna diguli ey'okusatu mu by'obufirosoofo, PhD mu by'obutonde n'oby'obugagga eby'omuttaka okuva mu Macquarie University, Sydney, Australia.[1] Yali mukozi wa Carl Duisberg Research fellow mu World Conservation Union (IUCN).[2]
Emirimu
kyusaMwebaza yali musomesa mu Makerere University, gye yaweerereza nga akulira ekitongole ky'amateeka g'eby'obusuubuzi, n'omumyuuka w'omukulu w'ebanguliro ly'abayizi abasoma amateeka, Makerere University wakati wa 1997 ne 2008.[3] Mwebaza era yaweereza ng'omuwi w'amagezi ku by'amateeka ku by'okwerinda mu kitundu ku Institute for Security Studies(ISS) mu Nairobi, Kenya. Oluvannyuma yaweereza ng'omuwi w'amagezi ku nkola z'ebitundu mu Eastern and Southern Africa ku nkyukakyuka y'embeera y'obudde mu kitongole kya Environment and Energy Group, ku United Nations Development Programme Bureau for Development Policy mu Johannesburg, South Africa. Yaweereza ng'omukulembeze w'enteekateeka mu ofiisi y'ekitundu ya UNDP mu Africa mu Addis Ababa, Ethiopia mu mawanga 47.[4] Era yalondebwa ng'omuwi w'amagezi eri omukulembeze w'ekibiina kya African Union, gye yawa amagezi ku nsonga z'enkulaakulana ezikwata ku nkola y'enkulakulaakulana y'ekibiina kya Africa Development Agenda ne UNDPS Development Support to Africa.[5] Dr. Mwebaza yeegatta ku bbanka era n'aweereza nga Chief Natural Resources Officer mu African Development Bank mu Abidjan, Ivory Coast.[6] Ye mukulembeze w'ekitongole kya Climate Technology Centre & Network (CTCN), ekitongole ekikola ku nkola ya UN Framework Convention on Climate Change (UNFCCC) Technology Mechanism, ekikuumibwa era n'okuddukanyizibwa ekitongole kya United Nations Industrial Development Organization (UNIDO) n'ekitongole ky'eby'obutonde ekya UN Environment Programme mu kifo kya Jukka Uosukainen ow'e Finland eyaweereza nga CTCN Director okuva mu 2014-2019.[7] Mu 2021, yalondebwa ng'omu ku bakazi 100 ab'amaanyi mu Afirika.[8]
Ebitabo ebiragiddwa
kyusa- The Nature and Extent of Environmental Crimes in Seychelles[9]
- Enforcement of Environmental Crime Laws A Framework Training Manual for Law Enforcement Agencies[10]
- Environmental Governance and Climate Change in Africa Legal Perspectives[11]
- Sustaining Good Governance in Water and Sanitation in Uganda[12]
- Partnerships for Enhancing Regional Enforcement of Laws Against Environmental Crimes[13]
- Annual Regional Conference of Judges on Environmental Security in Eastern Africa: Summary of presentations[14]
- Environmental Crimes in Ethiopia[15]
Ebyawandiikibwa
kyusa- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Abidjan