Namayanja Rose Nsereko (yazaalibwa 18 Ogw'omunaana 1975) munayuganda nga munnamateeka, muwandiisi, akulira ekitongole ky'eby'okwerinda era munnabyabufuzi . Mu kiseera kino ye muwanika mu ggwanga Ow’ekibiina ekiri mu buyinza ekifuga ekya The National Resistance Movement (NRM).

Namayanja yaliko Minisita w'ebyamawulire n'okulungamya eggwanga mu kakiiko akafuzi ak'eggwanga Uganda, ekifo kye yalimu okuva nga 23 Ogw'Okutaano 2013, okutuuka nga 1 Ogw'Okusatu 2015. Okwongeraza kwekyo,yaliko Minisita w’eggwanga mu Luwero Triangle mu ofiisi ya Ssaabaminisita, okuva nga 27 Ogw'okutaano 2011 okutuuka nga 24 Ogw'okutaano 2013. Ono yadda mu bigere bya Thembo Nyombi eyafuulibwa Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by'amawulire ne tekinologiya . Namayanja yaweerezako nga omubaka wa paalamenti owa Disitulikiti y'e Nakaseke akiikirira abakyala okuva mu 2006 okutuuka mu 2016. Yali mmemba ku batandisi b'ekibiina ekya Uganda Young Democrats (UYD), ekiwayi ky’abavubuka mu kibiina ky'eby'obufuzi mu Uganda ekya Democratic Party (DP) ekyali kimanyiddwa olw’endowooza z'eby'obufuzi egy'enkyuukakyuuka mu myaaka egya 1990.

Ebyafaayo n’obuyigirize

kyusa

Namayanja yazaalibwa Kalagi, ekyalo mu Disitulikiti y’e Nakaseke (emu ku disitulikiti y’e Luwero Triangle ) nga 18 Ogw'omunaana 1975 eri Jackson Ssebowa ne Catherine Namirembe Ssebowa. Muganda mu kika, yazaalibwa mu maka amakulisitaayo. Yakyuka n’dda munzikiriza eya Seventh-day Adventist Church ng’akyali mu siniya. Yasomera mu Kabowa Church of Uganda Primary School, mu pulayimale ne Light College Katikamu mu middle ne high school. Alina diguli esooka mu Arts (1998) ne mu mateeka (2011), zombi okuva mu Yunivaasite eye Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukulu era esinga obunene mu Uganda. Era alina diguli ey'okubiri mu Sayansi (2010), mu Security Sector Management, okuva mu ne Cranfield University, Defence Academy of the United Kingdom .

Emirimu gye

kyusa

Okwongerza ku mirimu gye egy’eby'obufuzi egya waggulu, Namayanja yakolako ng’omuwandiisi w’eby’ensoma mu kitongole kya Light Bureau of Accountancy mu 1998 . Wakati wa 1999 ne 2001, yakolako ng’omukungu w'eby'obufuzi mu maka g'obwa Pulezidenti e Kampala. Eby'obufuzi yabitandika ng’omuyizi era omukulembeze w’abavubuka mu yunivaasite e Makerere mu 1995. Y'omu ku ba mmemba abatandikawo ekibiina ekya Uganda Young Democrats (UYD), ekiwayi ky’abavubuka mu kibiina kya Uganda ekya Democratic Party (DP). Okusinziira ku ye, obuvumu n'amaanyi yabigya ku bavubuka abaali mu by'obufuzi mu kiseera ekyo ng’omugenzi Nobel Mayombo n’okuva ku bakyala ab’amaanyi mu by'obufuzi ng’eyali omumyuka wa pulezidenti wa Uganda, Specioza Naigaga Wandira Kazibwe, Winnie Byanyima, Janat Mukwaya ne Cecilia Ogwal . Okwagala okubaako ettofaali lyazimba ku kuddamu okuzimba Luwero Triangle, ekyaalo kye era eddwaniro ly'olutalo lw'okununula Yoweri Museveni kyamuleetera okwetaba mu 'bifo eby'amaanyi mu by'obufuzi.

Mu 2001 ku myaka 25, yalondebwa okubeera omubaka wa Palaamenti (MP) ng’akiikirira abavubuka mu kitundu kya masekkati ga Uganda, omuli Luwero Triangle, okumala ekisanja kya myaka etaano. Mu 2006, ng'amaze okwegatta ku kibiina ekya NRM oluvannyuma lw’okutandikawo ebibiina by'eby'obufuzi ebingi n'okutondawo Disitulikiti eye Nakaseke omwaka ogwali guyise, Namayanja yesimbawo n'ayitamu nga tavuganyizidwako ku kifo ky'omubaka Omukyala owa disitulikiti eye Nakaseke era n’addamu okulondebwa mu 2011 okumala ekisanja kya myaka etaano. Mu 2011, yalondebwa ku kifo kya minisita omubeezi owa Luwero Triangle mu ofiisi ya Ssaabaminisita (OPM). Ekifo ekyo yakibaamu okutuusa lwe yalondebwa okuba Minisita w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga nga 23 Ogw'okutaano 2013, ekifo kye yalimu okutuusa nga 1 Ogw'okutaano 2015, lwe yasuulibwa okuva mu kakiiko k'eggwanga akafuzi oluvannyuma lw'okufuulibwa omuwanika w'eggwanga mu kibiina kya National Resistance Movement mu January 2015. Namayanja teyavuganya mu kulonda kwa bonna okwa 2016 .

Obulamu bwe ng'omuntu

kyusa

Rose Namayanja yafumbirwa Charles Nsereko. Baagattibwa ku mukolo gw’Abadiventi nga 2 Ogw'Omwenda 2002. Yali Ssentebe w'akakiiko ka Palaamenti akakola ku baana aka Uganda Parliamentary Forum for Children . Yawummula eby'obufuzi ebibaamu okulonda mu 2016.

Laba ne

kyusa

 

Ebijuliziddwa

kyusa

Emikutu emirala

kyusa

Template:S-start Template:S-par Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-break Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-off Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-break Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft} Template:S-break Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-inc Template:S-end

Parliament of Uganda
Preceded by
Constituency Created
Member of Parliament for Youth Central Region

2001–2006
Succeeded by
Kasozi Joseph Muyomba
Preceded by
District Created
Member of Parliament from Nakaseke District

2006–2016
Succeeded by
Political offices
Preceded by Minister of State for Luweero Triangle

2011–2013
Succeeded by
Preceded by Minister of Information and National Guidance

2013–2015
Succeeded by
Preceded by National Treasurer of the National Resistance Movement

2015 – present
Incumbent