Rowena Turinawe
Rowena Turinawe, Munnayuganda omukugu mu information technology era corporate executive, akola nga omukulu wa Innovation and Digital Services, ku Centenary Technology Services Limited (Cente Tech), ekitongole kya tekinoloogiya ekiri wansi wa Centenary Group. Emabega ko, yaweereza nga business transformation manager ku National Information Technology Authority Uganda (NITA-Uganda), ekitongole kya Gavumentti eky'obufuzi.[1]
Background and education
kyusaTurinawe Munnayuganda. Nga amaliriza okusomera pulayimale ne siniya mu masomero g'abulijjo, ya yingizibwa mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Makerere University], Yunivasitte ya Gavumenti esinga obunene n'obukule mu Uganda. Eyo yatiikibwa ne first class mu diguli ya Bachelor of Information Technology. Oluvanyuma, University of Manchester, mu United Kingdom yamutikira ne Master of Information Systems and Change Management. Nga ogaseeko ebyo, asomye n'ebamutikila mu misomo gy'obukugu ejy'enjawulo, omuli (a) Senior Leadership Development Training ku Strathmore Business School (b) Change Management Practitioner (PROSCI) (c) Cisco Certified Network Associate (CCNA) (d) COBIT 5 (e) Information Technology Infrastructure Library (ITIL®) (f) Project Management Professional (PMP®) and (e) ITIL.[1][2]
Emirimu
kyusaEmirimu gya Turinawe gy'atandika mu mwaka gwa 2012, nga Network Operations Centre Supervisor ku Roke Telkom. Nga akaze akabanga katono mu bitongole by'akinoomu, yaweebwa omulimu ku MTN Uganda eyo gyeyaweereza nga front office service manager wa MTN Group IT shared services. Mu buno obusobozi yakulembera technical support team mu Uganda, Rwanda, Swaziland, Zambia, ne South Sudan. Mu nsi zino ttaano, n'abakozi 48,000, ttiimu jye yakulembera yaddamu eri empereza ezaali zisabiddwa era n'egonjoola alipoota ez'ebyo ebyaali bigudde mu bwangu nnyo.[1][3]
Mu mwaka gwa 2016, yegatta ku NITA Uganda, n'asooka nakola nga portfolio manager mu myaka essattu egy'asooka era nga business transformation manager emyaka essattu egy'addako. Yalina obuvunaanyizibwa bwokuba kalabaalaba w'enkulankulana n'okuza obujja ensengekera (sytems) za IT wansi w'obuvunayizibwa bwa ba Chief Information Officers abasobba mu 100 mu Gavumenti.[1] Amanyikiddwa nga omukugu mu (a) strategic planning and implementation (b) enterprise architecture development (c) ICT strategy and research (d) IT service management (e) stakeholder management (f) technical support management and (g) service delivery.[1][3]
Ebirala
kyusaMu Gwekuminogumu 2021, Rowena Turinawe ne mune gw'akola naye Vivian Ddambya, bombi abaali bakolera NITA Uganda mu biseera ebyo, baasimibwa publication CIO Africa, industry magazine ey'amaanyi era eyesigika, nga abamu ku bakyala 35 abaamanyi mu Tekinoloogiya mu Afirika.[4]
Era ne mu mwaka gwa 2023, Rowena yasiimibwa TRICON association nga Top Young ICT Professional ow'omwaka. Mu Gwekuminogumu 2021, Turinawe yatuumibwa Joyce Ssebugwawo , Minisita wa Uganda owa State Minister of Information and Communications Technology, okuba mmemba w'ekibiina ekipya ekya National Business Processing Outsourcing (BPO) and Innovation Council. Ekibiina kirina okukola ne Gavumenti mu kutandikawo emirimu jyabavubuka mu bya ICT era n'okukendeeza ebula ly'emirimu[5]
Laba ne
kyusaEbijuliziddwa
kyusa- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://www.pmldaily.com/business/2022/04/cente-tech-appoints-rowena-turinawe-as-head-ict-advisory.html
- ↑ http://nilepost.co.ug/2022/04/29/rowena-turinawe-is-cente-techs-new-digital-transformation-expert/
- ↑ 3.0 3.1 https://pctechmag.com/2022/04/cente-technologies-appoints-another-digital-gru-rowena-turinawe/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/121045/two-female-ict-professionals-get-africa-recog
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-09. Retrieved 2024-04-09.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)