Rubby Opio Aweri, nga n'olumu baliwandiika nga Rubby Aweri Opio, yazaalibwa nga 31 Ogwokutaano 1953,[1] n'afa 7 Ogwekumineebiri mu 2022 nga yali Munamateeka Omunnayuganda era omulamuzi, eyawereza nga omulamuzi wa Kkooti enkulu eya Uganda okuva mu Gwomwenda 2015.[2] Mu Gwomunaana 2017, akakiiko k'abanamateeka gaamuwa ekitiibwa ky'okubeera nga y'avunaanyizibwa ku by'okulondoola emirimu gy'abanamateeka mu kkooti ez'enjawulo omupya okumyaka ekisanja kya myaka esatu.[3]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

kyusa

Aweri yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Dokolo mu 1953,[4] nga mutabani w'omugenzi Samwiri Opio Aweri.[5]

Awerty yalina Diguli mu By'amateeka okuva kutendekeroa lya Makerere University, mu Kampala. Alina ne Dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka gyeyafuna okuva kutendekero eribangula mu by'amateeka eriyitibwa Law Development Centre,nga nalyo lisinganibwa mu Kampala. Diguli ye Ey'okubiri mu Mateeka yagifuna okuva kutendekero lya Makerere University.

Emirimu gye

kyusa

Emirimu gya Aweri gy'atandika mu 1982, nga eyali ayamba ku banamateeka mu Disitulikiti y'e Soroti. Mu 1983, Aweri yaweebwa eky'okubeera omulamuzi asokerwaako. Ytandika okulinya amadaala nga mu 1998, yatikirwa okubeera omulamuzi mu Kkooti enkulu.[6] Mu 2014, yakuzibwa n'agenda mu Kkooti ya Uganda ejulirwaamu. Mu Gwomwenda 2015, yakuzibwa n'agenda mu Kkooti ya Uganda Enkulu.[4][6] Mu Gwomunaana 2017, akakiiko k'abalamuzi kaamuwa eky'okubeera nga yeeyalina Okulondoola emirimu gy'abanamateeka mu Kkooti ez'njawulo ku kisanja ekyalina okubeera eky'emyaka esatu.[3]

Obulamu bwe n'enfaaye

kyusa

Aweri yali musajja mufumbo.[4] Yafiira mu ddwaliro ly'e Mulago nga 7 Ogwekumineebirimu 2022, ng'alina emyaka 69.[7]

Ebijuliziddwaamu

kyusa
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-20. Retrieved 2024-09-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.judiciary.go.ug/data/news/206/3769/New%20Justices%20Appointed%20to%20the%20Supreme%20Court%20and%20Court%20of%20Appeal.html
  3. 3.0 3.1 http://judiciary.go.ug/data/news/380/Hon.+Justice+Aweri+Appointed+New+Chief+Inspector+of+Courts+.html
  4. 4.0 4.1 4.2 http://mobile.monitor.co.ug/specialreports/elections/2471424-3105914-format-xhtml-pubyu6z/index.html
  5. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1245679/lango-nrm-supporter-laid-rest
  6. 6.0 6.1 https://medium.com/@princemulindwaisaac/profiling-the-justices-of-the-supreme-court-the-career-side-b3a3d0e02bc9
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/supreme-court-judge-rubby-opio-aweri-dies-at-69-4046198