Ruyonga
Ruyonga Munnayuganda omuyimbi wa hip hop n'ennyimba eziyimbibwa nga zitambula ng'ekitontome. Yali omu ku baasooka okuyimba hip hop mu Uganda, ng'ekibiina kye ekyasooka kye kyawangula empaka z'okuyimba mu ggwanga lyonna ezaaliwo mu mwaka gwa 2000. Yalondebwa ekibiina kya Rawkus Records ng'omu ku bayimbi 50 abasinga ku mutimbagano, era ekibiina kya Rawkus ne kiyambako mu kufulumya olutambi lwe olw'okubiri olutibwa AFRiCAN, mu mwaka gwa 2007. Mufumbo era alina omwana ow'obuwala. Yali ku lukalala lwa DSTV mu mwaka gwaka gwa 2013 olumanyiddwa nga African MCz: In a League of their own. Ayimbye ne bayimbi banne Abannayuganda omuli The mith, Bigtril, n'abalala bangi. Mu ngeri endala era asiimibwa olw'okufulumya vvaasi enseeneekerevu mu nnyimba za Uganda n'okusingira ddala mu Vuqa cypher.
Okuyimba
kyusaRuyonga muyimbi wa nnyimba za ddiini abadde abeera mu ggwanga lya Amerika okuva mu mwaka gwa 2002. Akoze n'abayimbi nga JGivens, Magg 44, Enygma, Benezeri, Big Tril, Maurice Kirya ne Don MC. Omuyimbi ono asinziira mu ggwanga lya Amerika emabega yali amanyiddwa nga Krukid, era nga mmemba mu kibinja ky'abayimbi ba hip hop abasatu abayimbira awamu ekiyitibwa A.R.M. (African Rebel Movement / Artists Representing the Motherland) omwali M.anifest (Ghana) ne Budo. Yateekebwa mu Rawkus 50, olukalala olwategekebwa ekibiina kya Rawkus Records mu mwaka gwa 2007 nga lulimu abayimbi ba hip hop 50 abajja okuba ab'omuwendo. Yakwata amaloboozi ga ffirimu ya Nana Kagga ey'omwaka gwa 2012 emanyiddwa nga, The Life. Mu mwaka gwa 2022, yeegatta ku bayimbi abavaayo omuli 1 Der Jr ne Zex Bilangilangi, era n'akola oluyimba lwa hip-hop olw'amaanyi oluyitibwa Parte Yaani. Oluyimba luno lukyase nnyo mu Uganda, Kenya ne Rwanda.
Ennyimba ze
kyusa- AFRiCAN, 2007
- S.O.S- Songs Of Struggle
- Glory Fire 2017
- Voice of my Father 2018